1
Zabbuli 35:1
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Wakana, ai Mukama, n'abo abawakana nange: Lwana n'abo abalwana nange.
Compare
Explore Zabbuli 35:1
2
Zabbuli 35:27
Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abayamba ensonga yange ey'obutuukirivu: Era boogerenga bulijjo eri Mukama agulumizibwe, Asanyukira omukisa ogw'omuddu we.
Explore Zabbuli 35:27
3
Zabbuli 35:28
N'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, Ne ku ttendo lyo obudde okuziba.
Explore Zabbuli 35:28
4
Zabbuli 35:10
Amagumba gange gonna galyogera nti Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omwavu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu n'omunafu eri oyo amunyaga?
Explore Zabbuli 35:10