YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 33

33
1 # Zab 32:11 Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu:
Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima.
2 # Zab 71:22; 144:9 Mumwebaze Mukama n'ennanga:
Muyimbe okumutendereza n'ennanga ey'engoye kkumi.
3 # Zab 40:3, Is 42:10, Kub 5:9 Mumuyimbire oluyimba oluggya;
Mukube ennanga n'amagezi n'eddoboozi ddene.
4Kubanga ekigambo kya Mukama kigolokofu;
N'omulimu gwe gwonna (agukola) mu bwesigwa.
5 # Zab 11:7; 89:14; 119:64 Ayagala obutuukirivu n'amazima:
Ensi ejjudde ekisa kya Mukama.
6 # Lub 1:6,7; 2:1, Is 11:4, Yok 1:1-3, Beb 11:3, 2 Peet 3:5 Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa;
N'eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n'omukka ogw'akamwa ke.
7 # Kuv 15:8, Yos 3:13 Amazzi ag'omu nnyanja agakuŋŋaanya ng'entuumo:
Atereka amadubi mu mawanika.
8Ensi zonna zityenga Mukama:
Bonna abali mu nsi zonna bamukankanirenga.
9 # Lub 1:3, Zab 148:5 Kubanga yayogera ne kikolebwa;
Yalagira ne kinywera.
10 # 2 Sam 15:34; 17:14, Nek 4:15, Is 8:10; 19:3 Mukama aggyawo okuteesa kw'amawanga:
Adibya ebirowoozo by'abantu.
11 # Nge 19:21, Is 46:10, Bik 4:27,28 Okuteesa kwa Mukama kunyweera ennaku zonna,
N'ebirowoozo by'omutima gwe okutuusa emirembe gyonna.
12 # Ma 7:6, Zab 144:15 Eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo liweereddwa omukisa;
Abantu be yalonda okuba obusika bwe ye.
13 # 2 Byom 16:9, Yob 34:21, Zab 11:4, Beb 4:13 Mukama alengera ng'ayima mu ggulu;
Atunuulira abaana b'abantu bonna;
14 # 1 Bassek 8:39,49, Yer 32:19 Ng'ayima mu kifo eky'ekisulo kye alaba
Ku abo abali mu nsi bonna;
15 # Is 64:9 Abumba emitima gyabwe bonna,
Alowooza ebikolwa byabwe byonna.
16 # Zab 44:6 Tewali kabaka alokoka olw'eggye okuba eringi:
Omuzira tawonyezebwa maanyi mangi.
17 # Zab 20:7, Nge 21:31, Kos 1:7 Embalaasi kye kintu ekitaliimu ku bulokozi:
So teewonyenga muntu olw'amaanyi gaayo amangi.
18 # Yob 36:7, Zab 34:15 Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya,
Ku abo abasuubira mu kusaasira kwe;
19 # Yob 5:20, Zab 37:19, Bik 12:11 Okuwonyanga emmeeme yaabwe okufa,
N'okubakuumanga abalamu mu njala.
20 # Zab 115:9-11, Is 8:17 Emmeeme yaffe erindiridde Mukama:
Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe.
21 # Zek 10:7 Kubanga omutima gwaffe gunaasanyukira oyo,
Kubanga twesize erinnya lye ettukuvu.
22Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerenga ku ffe,
Nga ffe bwe tusuubira mu ggwe.

Currently Selected:

Zabbuli 33: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in