YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 32

32
Zabbuli ya Dawudi. Masukiri.
1 # Kuv 34:7, Zab 85:2 # Bar 4:7,8 Aweereddwa omukisa asonyiyiddwa ekyonoono kye n'ekibi kye kikwekeddwa.
2 # Yok 1:47, 2 Kol 5:19 Aweereddwa omukisa Mukama gw'atabalira butali butuukirivu,
Ne mu mwoyo gwe temuli bukuusa.
3 # Zab 22:1; 31:10 Bwe nnasirikanga, amagumba gange gaakaddiwanga,
Olw'okukaaba kwange obudde okuziba.
4 # 1 Sam 5:6,11 Kubanga emisana n'ekiro omukono gwo gwanzitoowereranga:
Amazzi gange ne gakaliranga ng'olw'omusana ogw'ekyeya. (Seera)
5 # 2 Sam 12:13, Zab 38:18; 51:3, Nge 28:13, Luk 15:18, 1 Yok 1:9 Ne nkwatulira ekibi kyange, n'obutali butuukirivu bwange ne ssibukweka:
Nayogera nti Mukama naamwatulira ebyonoono byange;
Naawe n'onsonyiwa obutali butuukirivu obw'ekibi kyange. (Seera)
6 # Zab 42:7; 69:1,13, Is 55:6 Ku lw'ekyo buli atya Katonda akusabenga mu biro by'oyinza okulabikiramu:
Mazima mu ntaba ez'amazzi amangi tebalituuka gy'ali.
7 # Kuv 15:1-18, Balam 5:1-31, Zab 9:9; 31:20; 119:114 Oli bwekweko bwange; ononkuumanga mu kulaba ennaku;
Ononneetooloozanga ennyimba ez'obulokozi. (Seera)
8 # Zab 25:8,12, Is 48:17 Naakuyigirizanga naakulanganga mu kkubo ly'onooyitangamu:
Naakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.
9 # Yob 35:11, Nge 26:3 Temuba nga mbalaasi, n'ennyumbu, ezitalina magezi:
Ezigwanira okusibibwa ekyuma n'olukoba okuziziyiza,
Awatali ebyo, tezirijja gy'oli.
10 # Zab 34:8, Nge 13:21; 16:20, Yer 17:7, Bar 2:9 Ababi banaalabanga ennaku nnyingi:
Naye oyo eyeesiga Mukama okusaasirwa kunaamwetooloolanga.
11 # Zab 64:10 Musanyukire Mukama, mujaguze, mmwe abatuukirivu:
Mwogerere waggulu olw'essanyu, mwenna abalina omutima ogw'amazima.

Currently Selected:

Zabbuli 32: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in