YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 31

31
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 # Zab 11:1; 31:17 # 71:1-3 Ai Mukama, nkwesiga ggwe; nneme okuswazibwanga emirembe gyonna:
Ondokole mu butuukirivu bwo.
2 # Zab 71:2; 86:1; 91:2 Ontegere okutu kwo; yanguya okundokola:
Obeerenga gye ndi olwazi olw'amaanyi, ennyumba enkomere okumponya,
3 # Zab 18:2; 23:3, Yer 14:7 Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange;
Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.
4 # 25:15; 43:2 Onziye mu kyambika kye banteze enkiso;
Kubanga ggwe oli bbugwe wange.
5 # Ma 32:4, Luk 23:46, Bik 7:59, 1 Peet 4:19 Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo:
Ggwe wannunula, ai Mukama, ggwe Katonda ow'amazima.
6 # Yer 14:22, Yon 2:8 Nkyawa abo abalowooza ebigambo eby'obulimba ebitaliimu:
Naye neesiga Mukama.
7Naasanyukanga, naajaguzanga okw'okusaasira kwo:
Kubanga walaba ebibonoobono byange;
Wamanya emmeeme yange mu kulaba ennaku:
8 # Zab 18:19 So tewanziyiza kukwatibwa mukono ogw'omulabe;
Ebigere byange wabissa mu kifo ekigazi.
9 # Zab 6:7 Onsaasire, ai Mukama, kubanga zinsanze:
Eriiso lyange liweddemu olw'okunakuwala weewaawo, emmeeme yange n'omubiri gwange.
10 # Zab 6:2; 38:3 Kubanga obulamu bwange buyita n'okutegana, n'emyaka gyange giyita n'okusinda.
Amaanyi gange gampweddemu olw'okwonoona kwange, n'amagumba gange gakozze.
11 # Yob 19:13,14, Zab 88:8 Ku lw'abalabe bange bonna nfuuse ekivume,
Weewaawo, eri abaliraanwa bange ennyo, era nfuuse entiisa eri mikwano gyange:
Abandaba mu kkubo ne banziruka.
12 # Zab 88:5, Mub 9:5 Nneerabiddwa ng'omufu atalowoozebwa:
Nfaanana ng'ekibya ekyatise.
13 # 2 Sam 17:1-4, Yer 20:10, Mat 27:1 Kubanga nawulira okuwaayiriza kw'abangi,
Ensisi yanneetooloola:
Bwe baali bateesa ebigambo awamu ku nze,
Ne basala amagezi okunziyako
obulamu bwange.
14 # Zab 31:1,6 Naye nakwesiga ggwe, ai Mukama:
Nayogera nti Ggwe Katonda wange.
15 # Zab 7:1 Entuuko zange ziri mu mukono gwo:
Ondokole mu mukono gw'abalabe bange n'abo abanjigganya.
16 # Kubal 6:25, Zab 119:135, Dan 9:17 Amaaso go gaakire omuddu wo:
Ondokole mu kisa kyo.
17 # 1 Sam 2:9, Zab 25:2; 31:1; 115:17 Nnemenga okukwatibwa ensonyi, ai Mukama; kubanga nkukoowodde ggwe:
Ababi bakwatibwenga ensonyi, basirikenga mu magombe.
18 # Zab 12:3; 17:10 Emimwa egy'obulimba gisiruwalenga;
Egyogera ku batuukirivu n'ekyejo,
N'amalala n'okunyooma.
19 # Is 64:4 Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya,
Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu!
20 # Yob 5:21, Zab 27:5; 32:7 Gy'oli awakwekebwa w'onoobakisanga enkwe z'abantu:
Onoobakuumiranga mu weema mu kyama eri ennimi eziyomba.
21 # 1 Sam 23:7, Zab 17:7 Atenderezebwenga Mukama:
Kubanga andaze ekisa kye eky'ekitalo mu kibuga ekiriko ekigo.
22 # 2 Sam 15:4, Is 38:11,12, Yon 2:4 Nze nayogera nga nnyanguyiriza nti Nzikiridde mu maaso go:
Naye wawulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange bwe nnakukoowoola.
23 # Ma 32:41, Zab 30:4 Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be:
Mukama awonya abeesigwa,
Era asasulira ddala mu bungi akola eby'amalala.
24 # Zab 27:14 Muddengamu amaanyi, mugumenga omwoyo gwammwe,
Mwenna abasuubira mu Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 31: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in