Zabbuli 30
30
Zabbuli; oluyimba Ennyumba bwe yatukuzibwa; Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Zab 25:2; 35:19,24 Naakugulumizanga, ai Mukama; kubanga onnyimusizza,
N'otobampanguza abalabe bange.
2 #
Zab 6:2; 88:13 Ai Mukama Katonda wange,
Naakukoowoola, naawe n'omponya.
3 #
Zab 16:10; 28:1 Ai Mukama, walinnyisa emmeeme yange okuva mu magombe:
Omponyezza okufa, nneme okukka mu bunnya.
4 #
Zab 50:5; 97:12 Mumuyimbirenga Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be,
N'erinnya lye ettukuvu mulyebazenga.
5 #
Zab 103:9, Is 54:7,8 Kubanga obusungu bwe buyita mangu;
Mu kisa kye mwe muli obulamu:
Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro,
Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.
6 #
Zab 10:6, Nge 1:32 Nze bwe nnaweebwa omukisa, ne njogera nti
Sirisagaasagana emirembe gyonna.
7 #
2 Sam 24:10, Zab 104:29 Ggwe, Mukama, mu kisa kyo
wali onywezezza olusozi lwange:
N'okisa amaaso go; ne nneeraliikirira.
8 #
Zab 142:1
Ne nkukoowoola ggwe, ai Mukama;
Era Mukama ne mmwegayirira;
9 #
Zab 6:5
Omusaayi gwange guligasa gutya, bwe ndikka mu bunnya?
Enfuufu eneekutenderezanga? eneebuuliranga amazima go?
10 #
Zab 27:7
Wulira, ai Mukama, onsaasire:
Mukama, ggwe beera omubeezi wange.
11 #
2 Sam 6:14, Yer 31:13 Onfuulidde okunakuwala kwange okuzina;
Onziyeeko ebibukutu byange, onnyambazizza essanyu:
12 #
Zab 16:9
Ekitiibwa kyange kiryoke kikuyimbirenga okukutendereza, so kiremenga okusirika.
Ai Mukama Katonda wange, naakwebazanga emirembe gyonna.
Currently Selected:
Zabbuli 30: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.