YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 29

29
Zabbuli ya Dawudi.
1 # Zab 89:6 # Zab 96:7-9 Mumuwe Mukama, mmwe abaana b'abazira,
Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
2Mumuwe Mukama ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira;
Mumusinze Mukama mu butuukirivu obuwooma.
3 # Yob 37:4,5, Zab 18:11,13 Eddoboozi lya Mukama liri ku mazzi:
Katonda ow'ekitiibwa abwatuka,
Ye Mukama, ku mazzi amangi.
4 # Zab 68:33 Eddoboozi lya Mukama lya maanyi;
Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Weewaawo, Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 # Ma 3:9, Zab 114:4,6 Era agizinyisa ng'ennyana;
Lebanooni ne Siriyoni ng'ennyana y'embogo,
7Eddoboozi lya Mukama lyawula ennimi ez'omuliro.
8Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 # Yob 39:1-3 Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo,
Era likunkumulira ddala amabira,
Era mu yeekaalu ye buli kintu kyogera nti Ekitiibwa.
10 # Lub 6:17, Zab 10:16 Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba;
Weewaawo, Mukama atuula nga
kabaka emirembe gyonna.
11 # Zab 68:35, Is 40:29 Mukama aliwa amaanyi abantu be;
Mukama omukisa gw'aliwa abantu be gye mirembe.

Currently Selected:

Zabbuli 29: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in