1
Zabbuli 30:5
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kubanga obusungu bwe buyita mangu; Mu kisa kye mwe muli obulamu: Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.
Compare
Explore Zabbuli 30:5
2
Zabbuli 30:11-12
Onfuulidde okunakuwala kwange okuzina; Onziyeeko ebibukutu byange, onnyambazizza essanyu: Ekitiibwa kyange kiryoke kikuyimbirenga okukutendereza, so kiremenga okusirika. Ai Mukama Katonda wange, naakwebazanga emirembe gyonna.
Explore Zabbuli 30:11-12
3
Zabbuli 30:2
Ai Mukama Katonda wange, Naakukoowoola, naawe n'omponya.
Explore Zabbuli 30:2
4
Zabbuli 30:4
Mumuyimbirenga Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be, N'erinnya lye ettukuvu mulyebazenga.
Explore Zabbuli 30:4
5
Zabbuli 30:1
Naakugulumizanga, ai Mukama; kubanga onnyimusizza, N'otobampanguza abalabe bange.
Explore Zabbuli 30:1