YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 25

25
Zabbuli ya Dawudi.
1 # Zab 143:8, Kung 3:41 Gy'oli, ai Mukama, nnyimusiza emmeeme yange.
2 # Zab 25:20; 31:1; 71:1 Ai Katonda wange, naakwesiganga ggwe,
Toŋŋanya kukwatibwa nsonyi;
Abalabe bange tobaganya kumpangula.
3 # Is 49:23, Yer 3:20, Bar 10:11 Era siwali akulindirira anaakwatibwanga ensonyi:
Abo banaakwatibwanga ensonyi abasala enkwe ez'obwereere.
4 # Kuv 33:13, Zab 27:11 Ondage amakubo go, ai Mukama;
Onjigirize empenda zo.
5 # Zab 86:11 Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize;
Kubanga ggwe oli Katonda ow'obulokozi bwange;
Ggwe gwe nnindirira obudde okuziba.
6 # Lub 9:15; 19:29, Zab 51:1 Jjukira, ai Mukama, okusaasira kwo okulungi n'ekisa kyo;
Kubanga byaliwo edda n'edda lyonna.
7 # Yob 13:26, Yer 3:25 Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ebyonoono byange:
Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri,
Olw'obulungi bwo, ai Mukama.
8 # Zab 32:8; 100:5 Mukama ye mulungi era wa mazima:
Kyanaavanga ayigiriza ekkubo abalina ebibi.
9Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga
mu musango:
Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.
10Amakubo gonna aga Mukama
kye kisa n'amazima
Eri abo abeekuuma endagaano ye n'okutegeeza kwe.
11 # Zab 31:3; 79:9, Bar 5:20 Olw'erinnya lyo, ai Mukama,
Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene.
12 # Zab 32:8 Omuntu atya Mukama aluwa?
Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'anaasiimanga.
13 # Zab 37:9; 112:2, Nge 1:33 Emmeeme ye eneetuulanga mu mirembe;
N'ezzadde lye linaasikiranga ensi.
14 # Yob 29:4, Am 3:7 Ekyama kya Mukama kiri mu abo abamutya;
Era anaabalaganga endagaano ye.
15 # Zab 31:4; 123:1,2 Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna;
Kubanga ye anaggyanga ebigere byange mu kyambika.
16 # Zab 86:16 Onkyukire, onsaasire;
Kubanga ndekeddwa omu ne mbonaabona.
17Ennaku ez'omutima gwange zeeyongedde:
Kale onziye mu bibonoobono byange.
18Lowooza ennaku zange n'okutegana kwange;
Era onsonyiwe ebibi byange byonna.
19Lowooza abalabe bange, kubanga bangi;
Era bankyawa obukyayi obukambwe.
20 # Zab 25:2 Kale onkuumenga emmeeme yange, omponyenga:
Toŋŋanyanga kukwatibwa nsonyi, kubanga nkwesiga ggwe.
21Obutuukirivu n'amazima binkuumenga,
Kubanga nnindirira ggwe.
22 # 2 Sam 4:9, Zab 34:22; 130:8 Nunula Isiraeri, ai Katonda,
Mu bibonoobono bye byonna.

Currently Selected:

Zabbuli 25: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 25