Zabbuli 24
24
Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Kuv 9:29, Yob 41:11, Zab 50:12; 89:11, 1 Kol 10:26 Ensi ya Mukama, n'okujjula kwayo;
Ensi zonna, n'abo abazituulamu.
2 #
Zab 136:6, Nge 8:29 Kubanga yagisimba ku nnyanja,
Yaginyweza ku mazzi amangi.
3 #
Zab 15:1-5
Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama?
Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu?
4 #
Yob 22:30, Zab 73:1; 119:37, Mat 5:8 Oyo alina emikono emirungi, n'omutima omulongoofu;
Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu,
So teyalayiriranga bwereere.
5 #
Lub 22:17,18, Zab 27:9; 51:14; 88:1, Is 46:13 Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa,
Era n'obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow'obulokozi bwe.
6 #
Zab 105:4
Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya,
Abanoonya amaaso go, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
7 #
Zab 118:19,20, 1 Kol 2:8 Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi;
Nammwe muyimuke, mmwe bawankaaki abataggwaawo:
Ne kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
8 #
Kuv 15:3
Kabaka ow'ekitiibwa ye ani?
Mukama ow'amaanyi ow'obuyinza,
Mukama ow'obuyinza mu kulwana.
9Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi;
Kale, mugiyimuse, mmwe bawankaaki abataggwaawo:
Ne Kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
10 #
Mal 1:14
Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani?
Mukama ow'eggye,
Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa. (Seera)
Currently Selected:
Zabbuli 24: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.