Zabbuli 26
26
Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Zab 7:8; 11:1 Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange:
Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa.
2 #
Zab 7:9; 17:3 Onkebere, ai Mukama, onkeme;
Ongezeeko emmeeme yange n'omutima gwange.
3 #
2 Bassek 20:3, Zab 25:10 Kubanga ekisa kyo kiri mu maaso gange;
Era natambuliranga mu mazima go.
4Saatuulanga wamu na bantu abataliimu;
So ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa.
5 #
Zab 139:21,22 Ekibiina ky'abo abakola obubi nkikyawa,
So siituulenga wamu na babi.
6 #
Kuv 30:19,20, Zab 73:13 Naanaabanga mu ngalo zange mu butayonoona;
Bwe nneetooloolanga bwe ntyo ekyoto kyo, ai Mukama:
7 #
Zab 9:1
Ndyoke mpulirizenga eddoboozi ery'okwebaza,
Njogerenga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo.
8 #
Zab 27:4
Mukama, njagala ekisulo eky'omu nnyumba yo,
N'ekifo ekitiibwa kyo kye kituulamu.
9 #
Zab 28:3
Tonoga mmeeme yange wamu
n'abalina ebibi,
Newakubadde obulamu bwange wamu n'abantu ab'omu nsi:
10 #
Ma 16:19
Emikono gyabwe girimu ettima,
N'omukono gwabwe ogwa ddyo gujjudde enguzi.
11 #
Zab 5:8; 25:4 Naye nze naatambuliranga mu butuukirivu bwange:
Onnunule, era onsaasire.
12 #
22:25
Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu:
Mu bibiina neebazanga Mukama.
Currently Selected:
Zabbuli 26: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.