YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 23

23
Zabbuli ya Dawudi.
1 # Zab 34:9,10; 80:1, Is 40:11, Ez 34:11,12, Yok 10:11, Beb 13:20, 1 Peet 2:25; 5:4 Mukama ye musumba wange; seetaagenga.
2 # Ez 34:14, Yok 10:9 Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto:
Antwala ku mabbali ag'amazzi amateefu.
3Akomyawo emmeeme yange:
Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye.
4 # Zab 27:1; 138:7, Is 8:10; 43:2, Mi 7:14 Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe,
Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange:
Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa.
5 # 2 Sam 17:27-29, Zab 45:7; 78:19, Luk 7:46 Onteekerateekera emmeeza mu maaso g'abalabe bange:
Onsiize amafuta ku mutwe; ekikompe kyange kiyiwa.
6 # Zab 27:4 Obulungi n'ekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ez'obulamu bwange:
Nange naatuulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi.

Currently Selected:

Zabbuli 23: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in