YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 22

22
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekya Ayijeresi-kassakali. Zabbuli ya Dawudi.
1 # Zab 38:8, Mat 27:46, Mak 15:34, Beb 5:7 Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?
Lwaki okubeera ewala obutanzibira, obutawulira bigambo eby'okukaaba kwange?
2 # Zab 88:1 Ai Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu;
Era n'ekiro, so ssisirika.
3 # Leev 19:2, Zab 80:1; 147:12 Naye ggwe oli mutukuvu,
Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri.
4Bajjajja baffe baakwesiganga ggwe:
Beesiganga, naawe n'obawonya.
5 # Balam 3:9, Zab 25:2, Bar 9:33 Baakukoowoolanga ggwe, ne bawonyezebwanga:
Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi.
6 # Yob 15:6, Zab 69:19, Is 53:3 Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu;
Abasajja gwe bavuma, n'abantu gwe banyooma.
7 # 2 Bassek 19:21, Zab 109:25, Mak 15:29-32 Bonna abandaba bansekerera ne banduulira:
Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti
8 # Zab 18:19; 37:5; 91:14, Mak 1:11 Yeeweeyo eri Mukama; ye amulokole:
Amuwonye, kubanga amusanyukira.
9 # Zab 71:6 Naye ggwe wanziya mu lubuto lwa mmange:
Ggwe wanneesiza bwe nnali nga
nkyali ku mabeere ga mmange.
10 # Is 49:1, Bag 1:15 Neeyuna ggwe okuva mu kuzaalibwa kwange:
Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange.
11 # Zab 10:1, Is 63:5 Tombeera wala; kubanga akabi kali kumpi;
Kubanga tewali anannyamba.
12Zisseddume nnyingi zinneetoolodde:
Zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani zinzingizizza.
13 # Yob 16:10, Zab 35:21, 1 Peet 5:8 Banjasamidde akamwa kaabwe,
Ng'empologoma etaagulataagula ewuluguma.
14 # Yos 2:11, Nak 2:10 Nfukibwa ng'amazzi,
N'amagumba gange gonna gasowose.
Omutima gwange guli ng'obubaane;
Gusaanuuse wakati mu byenda byange.
15 # Yob 29:10, Nge 17:22, Yok 19:28 Amaanyi gange gakaliridde ng'olugyo;
N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange;
Era ondeese mu nfuufu ey'okufa.
16 # Mak 15:24, Luk 24:40, Yok 19:23; 20:20,25 Kubanga embwa zinneetoolodde:
Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza;
Bampummudde engalo zange n'ebigere byange.
17 # Mat 27:36, Luk 23:35 Nnyinza okubala amagumba gange gonna;
Bantunuulira, banvulumulira amaaso:
18 # Mat 27:35, Mak 15:24, Luk 23:34, Yok 19:23,24 Bagabana ebyambalo byange,
Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange
19 # Zab 38:22 Naye tobeera wala, ai Mukama:
Ai ggwe annyamba, yanguya okunzibira.
20 # Zab 35:17, Ez 34:14, Yok 10:9 Wonya emmeeme yange eri ekitala;
Ne kaganzi kange eri amaanyi g'embwa.
21 # 2 Tim 4:17 Ondokole mu kamwa k'empologoma;
Era ne mu mayembe g'embogo wanziramu.
22 # Mat 28:10, Yok 17:6; 20:17, Beb 2:12 Naabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange:
Wakati mu kibiina naakutenderezanga.
23Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga;
Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga;
Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri.
24 # Zab 10:1; 13:1, Beb 5:7 Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo anakuwala;
So teyamukisa amaaso ge;
Naye bwe yamukoowoola, n'awulira.
25 # Zab 66:13, Yon 2:9 Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene:
Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abamutya.
26 # Zab 69:32 Abawombeefu balirya ne bakkuta:
Balitendereza Mukama abamunoonya:
Omutima gwammwe gubeerenga mulamu emirembe gyonna.
27 # Zab 2:8; 67:7; 96:7 Enkomerero zonna ez'ensi zirijjukira ne zikyukira Mukama:
N'ebika byonna eby'amawanga birisinza mu maaso go.
28 # Zab 47:8, Ob 21, Zek 14:9 Kubanga obwakabaka bwa Mukama:
Naye ye afuga amawanga.
29 # Zab 45:12 Abagevvu bonna ab'ensi balirya
ne basinza:
N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira,
Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa.
30 # Zab 71:18; 78:6 Ezzadde lirimuweereza;
Kiribuulirwa ku Mukama okutuusa ku mirembe egigenda okujja.
31Balijja ne babuulira obutuukirivu bwe
Eri abantu abalizaalibwa, nga ye abukola.

Currently Selected:

Zabbuli 22: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in