Zabbuli 21
21
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Zab 28:7,8 Kabaka anaasanyukiranga amaanyi go, ai Mukama;
N'obulokozi bwo ng'anaabujagulizanga nnyo!
2 #
88:1
Omuwadde omutima gwe kye gwagala,
So tomummye emimwa gye kye gisabye. (Seera)
3 #
Leev 19:2, Zab 80:1; 147:12 Kubanga omusisinkanye n'eby'omukisa eby'obulungi:
Omuteekako ku mutwe gwe engule ey'ezaabu ennungi.
4Yakusaba obulamu, n'obumuwa;
Era n'ennaku ennyingi ez'emirembe n'emirembe.
5 #
Zab 96:6
Ekitiibwa kye kingi mu bulokozi bwo:
Ekitiibwa n'obukulu obimussaako.
6 #
Zab 16:11
Kubanga omuteekawo okuba omukisa omungi emirembe gyonna:
Omusanyusa essanyu mu maaso go.
7 #
Zab 16:8; 91:2 Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga.
8Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna:
Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa.
9 #
Zab 50:3, Is 26:11, Mal 4:1 Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo.
Mukama alibamira mu kiruyi kye,
N'omuliro gulibalya.
10 #
1 Bassek 13:34, Zab 37:28, Is 14:20 Ebibala byabwe olibizikiriza ku nsi,
N'ezzadde lyabwe mu baana b'abantu.
11Kubanga baakuteeseza obubi:
Baasala olukwe, lwe bataayinza kukola.
12 #
Zab 11:2; 18:40 Kubanga olibazza ennyuma,
Oliteekateeka engoye zo
ez'omutego ku maaso gaabwe.
13Ogulumizibwenga, ai Mukama, mu maanyi go:
Tulyoke tuyimbenga tutenderezenga obuyinza bwo.
Currently Selected:
Zabbuli 21: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.