Zabbuli 20
20
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Lub 35:3, Zab 59:1 Mukama akuddemu ku lunaku
olw'okunakuwala;
Erinnya lya Katonda wa Yakobo likugulumizenga waggulu;
2Akuweerezenga okubeerwa mu
kifo ekitukuvu,
Akuwenga amaanyi agava mu Sayuuni;
3 #
Bik 10:4
Ajjukirenga bye wawaayo byonna,
Akkirizenga ssaddaaka yo enjokye; (Seera)
4 #
Zab 21:2
Akuweenga omutima gwo kye gwagala,
Atuukirizenga okuteesa kwo kwonna.
5 #
1 Sam 17:45, Zab 60:4,7,8, Bar 7:12 Tunaawangulanga mu bulokozi bwo,
Ne mu linnya lya Katonda waffe tunaawanikanga ebendera zaffe:
Mukama atuukirizenga by'osaba byonna.
6 #
Zab 28:8
Kaakano mmanyi nga Mukama alokola oyo gwe yasiiga amafuta;
Alimuddamu ng'ayima mu ggulu lye ettukuvu
N'obulokozi obuwonya obw'omukono gwe ogwa ddyo.
7 #
2 Byom 32:8, Nge 21:31, Is 31:1 Abalala beesiga amagaali, n'abalala beesiga embalaasi:
Naye ffe tunaayogeranga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8Bakutamye bo ne bagwa:
Naye ffe tugolokose, ne tuyimirira.
9Lokola, Mukama:
Kabaka atuddemu bwe tukoowoola.
Currently Selected:
Zabbuli 20: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.