Zabbuli 19
19
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Bar 1:20
Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda:
N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye.
2Omusana gugamba ebigambo omusana,
N'ekiro kiraga amagezi ekiro.
3Siwali bigambo newakubadde olulimi;
Eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4 #
Bar 10:18
Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna,
N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi.
Abiteekeddemu enjuba eweema,
5 #
Balam 5:31, Bik 10:4 Eri ng'awasa omugole ng'ava mu nju ye,
Era esanyuka ng'ow'amaanyi
okuyita mu lugendo lwayo.
6 #
Mub 1:5, Zab 21:2 Evaayo ku nkomerero y'eggulu,
Ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo:
So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo.
7 #
Mat 11:25, 2 Tim 3:15 Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme:
Okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi.
8 #
Zab 12:6; 13:3 Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima:
Ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso.
9 #
Zab 119:142,151 Entiisa ya Mukama nnungi, ya lubeerera emirembe gyonna:
Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala.
10 #
Zab 119:103,127 Bisaanira okubiyaayaanira okusinga ezaabu, era n'ezaabu ennyingi ennungi:
Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo.
11Era ebyo bye birabula omuddu wo:
Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene.
12 #
Yob 34:32, Zab 90:8, 1 Kol 4:4 Ani ayinza okukebera ebyonoono bye?
Onnongoose mu bibi ebikisibwa.
13 #
Kubal 15:30, 1 Sam 25:33,34,39, Zab 119:133, Bar 6:12,14 Era ne mu by'amalala oziyize omuddu wo;
Bireme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira,
So omusango ogw'okwonoona okunene tegulinsinga.
14 #
Yob 19:25
Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go,
Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.
Currently Selected:
Zabbuli 19: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.