Zabbuli 1
1
EKITABO 1
1 #
Nge 4:14; 21:24 Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi,
Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi,
Newakubadde okutuula ku ntebe y'abanyooma.
2 #
Yos 1:8, Zab 119:47,97, Bar 7:22 Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa;
Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.
3 #
Lub 39:3,23, Ez 47:12 Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi,
Ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo,
Era amalagala gaagwo tegawotoka;
Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.
4 #
Yob 21:18
Ababi si bwe batyo;
Naye bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula.
5 #
Zab 5:5
Ababi kyebaliva balema okuyimirira mu musango,
Newakubadde abalina ebibi mu kkuŋŋaaniro ly'abatuukirivu.
6 #
Nak 1:7, Yok 10:4 Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu:
Naye ekkubo ly'ababi liribula.
Currently Selected:
Zabbuli 1: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.