YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 18

18
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi omuddu wa Mukama, eyagamba Mukama ebigambo eby'oluyimba luno ku lunaku Mukama lwe yamuwonyezaako mu mukono gw'abalabe be bonna, ne mu mukono gwa Sawulo: n'ayogera nti.
1Nkwagala ggwe, ai Mukama, amaanyi gange.
2 # Lub 15:1, Ma 32:4, 1 Sam 2:2, Zab 9:9; 18:30,31; 31:3; 91:2, Luk 1:69, Beb 2:13 # 2 Sam 22:2-51 Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola;
Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga;
Engabo yange, n'ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekigulumivu.
3 # Zab 48:1; 96:4 Naakoowoolanga Mukama, asaanira okutenderezebwa:
Bwe nnaalokokanga bwe ntyo mu balabe bange.
4 # Zab 32:6; 116:3 Emigwa egy'okufa gyansiba,
N'ebitaba eby'obutatya Katonda byantiisa.
5Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola:
Emitego egy'olumbe gyankwasa.
6 # Zab 11:4; 120:1, Yon 2:2 Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama,
Ne mpita Katonda wange:
N'awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye,
Ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge.
7 # Zab 77:18, Bik 4:31; 16:26 Ensi n'eryoka ekankana n'esagaasagana,
Era n'emisingi gy'ensozi ne gikankana ne ginyeenyezebwa,
Kubanga asunguwadde.
8 # Zab 21:9 Omukka ne gunyooka mu nnyindo ze,
N'omuliro ne guva mu kamwa ke ne gulya:
Ne gukoleeza amanda.
9 # Kuv 20:21, Zab 144:5, Is 64:1 Era n'eggulu n'alikutamya, n'akka;
N'ekizikiza ekinene ne kiba wansi w'ebigere bye.
10 # Zab 104:3 Ne yeebagala kerubi n'abuuka:
Era n'abuuka mangu ku biwaawaatiro eby'empewo.
11 # Yob 36:29, Zab 97:2 Ekizikiza n'akifuula eky'okwekwekamu, eweema ye emwetoolodde;
Ekizikiza eky'amazzi, ebire ebikutte eby'omu ggulu.
12Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ebire bye ebikutte ne biyita,
Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
13 # 1 Sam 2:10; 7:10, Yob 37:4, Zab 29:3-9, Is 30:30 Era Mukama n'abwatuka mu ggulu,
N'oyo ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye;
Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
14 # Zab 77:17; 144:6, Kaab 3:11 N'alasa obusaale bwe n'abasaasaanya;
N'alasa enjota nnyingi n'abeeraliikiriza.
15 # Kuv 15:8, Nak 1:4 Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika,
Emisingi gy'ensi ne gyeruka,
Mu kunenya kwo, ai Mukama,
Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo.
16 # Zab 144:7 Yatuma okuva waggulu, n'antwala;
N'ampalula mu mazzi amangi.
17Yamponya eri mulabe wange ow'amaanyi,
N'eri abo abankyawa, kubanga bansinza amaanyi nze.
18Banjijira ku lunaku olw'akabi kange:
Naye Mukama ye yannyweza.
19 # Zab 18:36; 22:8; 31:8; 118:5 Era n'anfulumya mu kifo ekigazi;
Yamponya, kubanga yansanyukira.
20 # Luus 2:12, 1 Sam 24:19, 1 Bassek 8:32 Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali;
Ng'emikono gyange bwe giri emirungi, bw'ansasudde.
21 # Lub 18:19 Kubanga nakwata amakubo ga Mukama,
Ne ssireka Katonda wange n'obubi.
22Kubanga emisango gye gyonna gyali mu maaso gange,
So amateeka ge saagaggyaawo gye ndi.
23 # Lub 17:1, 1 Bassek 14:8 Era nali eyatuukirira gy'ali.
Ne nneekuuma mu bubi bwange.
24Mukama kyavudde ansasula, ng'obutuukirivu bwange bwe buli,
Emikono gyange nga bwe giri emirungi mu maaso ge.
25 # Mat 5:7; 18:33 Eri ow'ekisa oneeraga ow'ekisa;
Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira;
26 # Leev 26:23,24, Nge 3:34, Bar 1:28 Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu;
N'eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
27 # Kuv 3:7, Nge 6:17, Luk 1:51 Kubanga onoolokolanga abantu abajoogebwa;
Naye amaaso ag'amalala onoogatoowazanga.
28 # 1 Bassek 11:36, Zab 132:17 Kubanga ggwe olikoleeza ettabaaza yange.
Mukama Katonda wange alimulisa mu kizikiza kyange.
29Kubanga mu kubeerwa kwo nnumba ekibiina;
Era mu kuyamba kwa Katonda wange mbuuka ekigo.
30 # Ma 32:4, Zab 12:6; 18:2, Mat 5:48 Katonda, ekkubo lye lyatuukirira:
Ekigambo kya Mukama kyakettebwa;
Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.
31 # Ma 32:31, Zab 86:8 Kubanga ani Katonda, wabula Mukama?
Era ani olwazi, wabula Katonda waffe?
32 # 1 Sam 2:4, Zab 101:2,6 Katonda ansibya amaanyi,
Era atuukiriza ekkubo lyange.
33 # Is 58:14, Kaab 3:19 Afuula ebigere byange ng'eby'empeewo:
Era angulumiza mu bifo byange ebya waggulu.
34 # Zab 144:1 Anjigiriza engalo zange okulwana;
Emikono gyange ne gireega omutego ogw'ekikomo.
35 # Is 63:9 Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo:
N'omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde,
N'obuwombeefu bwo bungulumizizza.
36 # Zab 18:36 Zab 18:19, Nge 4:12 Ongaziyirizza ekkubo ery'ebigere byange,
N'ebisinziiro byange tebiseereranga.
37Ndigoberera abalabe bange, ne mbatuukako:
So ssirikomawo nga tebannazikirizibwa.
38Ndibafumitira ddala ne batayinza kuyimuka:
Baligwa wansi w'ebigere byange.
39Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana:
Obafukamizza mu maaso gange abannyimukirako.
40 # Kuv 23:27, Zab 21:12 Era abalabe bange obakyusizza amabega gaabwe gye ndi,
Ndyoke nzikirize abankyawa.
41 # Yob 27:9, Nge 1:28 Baakoowoola, naye tewaali mulokozi:
Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu.
42Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo:
Ne mbasuula ng'ebitosi eby'omu nguudo.
43 # 2 Sam 3:1; 8:1-14; 19:9,43, Zab 2:8, Is 55:5 Omponyezza mu kuyomba kw'abantu;
Onfudde omutwe gw'amawanga;
Abantu be ssaamanyanga balimpeereza.
44Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera:
Bannaggwanga balinjeemulukukira.
45 # Mi 7:17 Bannaggwanga baliggwaawo,
Baliva mu bifo byabwe eby'okwekwekamu nga bakankana.
46Mukama mulamu; olwazi lwange atenderezebwe;
Era agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange:
47 # Zab 47:3 Ye Katonda ampalanira eggwanga,
Era awangula amawanga ngafuge.
48 # Zab 59:1 Amponya eri abalabe bange:
Weewaawo, ongulumiza ku abo abannyimukirako:
Ondokola eri omuntu ow'ekyejo.
49 # Bar 15:9 Kyennaavanga nkwebaza ggwe, ai Mukama, mu mawanga,
Naayimbanga okutendereza erinnya lyo.
50 # 2 Sam 7:12,13, Zab 2:2; 89:29; 144:10 Obulokozi bukulu bw'awa kabaka we;
Era amukolera eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta,
Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe.

Currently Selected:

Zabbuli 18: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in