YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 17

17
Okusaba kwa Dawudi.
1 # Zab 61:1; 142:6 Wulira ensonga ey'obutuukirivu, ai Mukama, lowooza okukaaba kwange;
Tega okutu owulire okusaba kwange, okutava mu mimwa egy'obukuusa.
2Omusango gwange guve w'oli;
Amaaso go gatunuulire obutuukirivu.
3 # Yob 23:10, Zek 13:9, 1 Peet 1:7 Wagezaako omutima gwange; wajja gye ndi ekiro;
Wankema, n'otolaba kigambo;
Mmaliridde akamwa kange obutayonoonanga.
4Mu bikolwa by'abantu, olw'ekigambo eky'emimwa gyo
Neekuumanga mu makubo ag'abantu abalina ekyejo.
5 # Yob 23:11 Olugendo lwange lwanywera mu makubo go,
Ebigere byange tebiseereranga.
6 # Zab 116:1,2 Nkukoowodde, kubanga ggwe ononziramu, ai Katonda:
Ontegere okutu kwo, ompulire bye njogera.
7Laga ekisa kyo eky'ekitalo, ggwe alokola abakwesiga,
Mu abo ababagolokokerako, n'omukono gwo ogwa ddyo.
8 # Ma 32:10, Luus 2:12, Zab 36:7; 91:4, Mat 23:37 Onkuume ng'emmunye ey'eriiso,
Onkise mu kisiikirize eky'ebiwawaatiro byo,
9Mu babi abannyaga,
Mu balabe bange abaagala okunzita, abanzingiza.
10 # Yob 15:27, Zab 73:7; 119:70, Is 6:10 Babikkiddwa amasavu gaabwe:
N'akamwa kaabwe boogera eby'amalala.
11 # 1 Sam 23:26 Kaakano batuzingizizza mu bigere byaffe:
Bakaliriza amaaso gaabwe okutusuula wansi.
12 # Zab 10:9 Afaanana ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo,
Era ng'omwana gw'empologoma ogw'ekisa we guteegera.
13Golokoka, ai Mukama,
Omuyimirire mu maaso, omumegge wansi:
Omponye emmeeme yange eri omubi n'ekitala kyo;
14 # Yob 21:8,11, Zab 10:18, Mat 6:2,5,16, Luk 16:8,25 Eri abantu n'omukono gwo, ai Mukama,
Eri abantu ab'ensi, abalina omugabo gwabwe mu bulamu buno,
N'olubuto lwabwe olujjuza obugagga bwo:
Banyiye abaana,
N'ebintu byabwe ebisigalawo babirekera abaana baabwe.
15 # Yob 19:26,27, Zab 11:7, 1 Yok 3:2 Nze amaaso go ndigalaba mu butuukirivu:
Ndimatira bwe ndizuukuka n'ekifaananyi kyo.

Currently Selected:

Zabbuli 17: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in