1
Zabbuli 18:2
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola; Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga; Engabo yange, n'ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekigulumivu.
Compare
Explore Zabbuli 18:2
2
Zabbuli 18:30
Katonda, ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakettebwa; Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.
Explore Zabbuli 18:30
3
Zabbuli 18:3
Naakoowoolanga Mukama, asaanira okutenderezebwa: Bwe nnaalokokanga bwe ntyo mu balabe bange.
Explore Zabbuli 18:3
4
Zabbuli 18:6
Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye, Ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge.
Explore Zabbuli 18:6
5
Zabbuli 18:28
Kubanga ggwe olikoleeza ettabaaza yange. Mukama Katonda wange alimulisa mu kizikiza kyange.
Explore Zabbuli 18:28
6
Zabbuli 18:32
Katonda ansibya amaanyi, Era atuukiriza ekkubo lyange.
Explore Zabbuli 18:32
7
Zabbuli 18:46
Mukama mulamu; olwazi lwange atenderezebwe; Era agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange
Explore Zabbuli 18:46