Zabbuli 14
14
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Zab 10:4
#
Bar 3:10-12
#
Zab 53:1-6
Omusirusiru ayogedde mu mutima gwe nti Siwali Katonda.
Bavunze, bakoze ebikolwa eby'obugwagwa;
Siwali akola obulungi.
2 #
2 Byom 19:3, Zab 102:19 Mukama yatunuulira ng'ayima mu ggulu abaana b'abantu,
Okulaba nga waliwo abaategeera,
Abaanoonya Katonda.
3Bonna bakyamye; boonoonese empitambi wamu;
Siwali akola obulungi, newakubadde n'omu.
4 #
Zab 79:6, Is 1:3, Yer 4:22; 10:25, Kos 7:7, Mi 3:3 Bonna abakola obutali butuukirivu tebalina magezi?
Abalya abantu bange nga bwe balya emmere,
So tebakoowoola Mukama.
5Eri baalina obuti bungi:
Kubanga Katonda ali mu mirembe gy'abatuukirivu.
6 #
Zab 46:1; 61:3; 91:2; 142:5 Mukwasa ensonyi okuteesa kw'omwavu,
Kubanga Mukama kye kiddukiro kye.
7 #
Zab 85:1; 126:1, Kos 6:11, Yo 3:1 Singa obulokozi bwa Isiraeri buvudde mu Sayuuni!
Mukama bw'alizzaayo obusibe obw'abantu be,
Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.
Currently Selected:
Zabbuli 14: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.