YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 15

15
Zabbuli ya Dawudi.
1 # Zab 2:6 # Zab 24:3-5 Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani?
Anaabeeranga ku lusozi lwo
olutukuvu ye ani?
2 # Zab 84:11; 106:3, Zek 8:16, Bef 4:25 Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu,
Era ayogera eby'amazima mu mutima gwe.
3 # Kuv 23:1, Leev 19:16 Atawaayiriza n'olulimi lwe,
So mukwano gwe tamukola bubi,
So takkiriza kibi ku muliraanwa we.
4 # Yos 9:18-20, Balam 11:35, Es 3:2 Amaaso ge ganyooma omubi;
Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Bw'alayira ne bw'afiirwa, takyuka.
5 # Kuv 23:8, Ma 16:19; 23:19, Ez 18:8 Atawolera bintu bye magoba.
So taweebwa mpeera ku atalina musango.
Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna.

Currently Selected:

Zabbuli 15: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in