YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 13

13
1Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
# Yob 12:24, Zab 79:5; 89:46, Is 59:2 Olituusa wa, ai Mukama,
okunneerabiranga emirembe gyonna?
Olituusa wa okunkisanga amaaso go?
2Ndituusa wa okuteesanga mu meeme yange,
Nga ndaba ennaku mu mutima gwange obudde okuziba?
Alituusa wa omulabe wange okugulumizibwanga ku nze?
3 # 1 Sam 14:27, Ezer 9:8, Nge 29:13, Bef 1:18 Lowooza onziremu, ai Mukama Katonda wange:
Yakira amaaso gange, nneme okwebaka okufa;
4 # Ma 32:27 Omulabe wange alemenga okwogera nti Mmuwangudde:
Abankyawa balemenga okujaguza nga nsagaasagana.
5 # Zab 9:14 Naye nneesize okusaasira kwo;
Omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo:
6 # Zab 116:7; 119:17 Naayimbiranga Mukama,
Kubanga ankoledde obulungi obungi.

Currently Selected:

Zabbuli 13: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in