YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 12

12
Ya mukulu wa bayimbi; ey'ekiseminisi. Zabbuli ya Dawudi.
1 # Is 57:1, Mi 7:2 Yamba, Mukama; kubanga atya Katonda aggwaawo;
Kubanga abakkiriza bakendeera
mu baana b'abantu.
2 # Zab 5:9, Yer 9:8, Bar 16:18, Yak 1:8 Boogera ebitaliimu buli muntu ne munne:
Boogera n'emimwa eginyumiriza n'emitima ebiri.
3Mukama alimalawo emimwa gyonna eginyumiriza,
N'olulimi olwogera ebikulu:
4Aboogedde nti N'olulimi lwaffe tuliwangula;
Emimwa gyaffe gye gyaffe: atufuga ye ani?
5 # Zab 9:12, Is 33:10 Olw'okunyagibwa kw'abaavu, olw'okusinda kw'abanafu,
Kaakano naagolokoka, Mukama bw'ayogera;
Naamuteeka mu mirembe gwe basooza.
6 # Zab 18:30; 119:140, Nge 30:5 Ebigambo bya Mukama bye bigambo ebirongoofu;
Nga ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi,
Erongoosebwa emirundi omusanvu.
7Onoobakuumanga, ai Mukama,
Onoobawonyanga mu mirembe gino ennaku zonna.
8Ababi batambula ku njuyi zonna,
Obugwagwa bwe bugulumizibwanga mu baana b'abantu.

Currently Selected:

Zabbuli 12: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in