Zabbuli 11
11
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
1 Sam 23:14, Zab 25:2 Mukama gwe nneesiga: Mugamba mutya emmeeme yange nti
Ddukira ku lusozi lwammwe ng'ennyonyi?
2 #
64:4
Kubanga, laba, ababi batega omutego,
Bateekateeka akasaale ku lugoye,
Balasize mu nzikiza abalina omutima ogw'amazima.
3Oba nga emisingi girizikirizibwa,
Kiki omutuukirivu ky'ayinza okukola?
4 #
Zab 33:13, Is 66:1, Kaab 2:20, Mat 5:34, Bik 7:49 Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu,
Mukama, entebe ye eri mu ggulu;
Amaaso ge galaba abaana b'abantu, ebikowe bye bibakema.
5 #
Lub 22:1, Zab 5:5, Yak 1:12 Mukama akema abatuukirivu:
Naye omubi n'oyo ayagala eby'amaanyi emmeeme ye ebakyawa.
6 #
Lub 19:24, Zab 75:8, Ez 38:22 Ku babi anaatonnyesanga ebyambika;
Omuliro n'ekibiriiti n'empewo ezookya binaabeeranga omugabo ogw'ekikompe kyabwe.
7 #
Zab 17:15; 33:5, 1 Yok 3:2, Kub 22:4 Kubanga Mukama mutuukirivu; ayagala eby'obutuukirivu:
Abalina omwoyo ogw'amazima baliraba amaaso ge.
Currently Selected:
Zabbuli 11: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.