1
Zabbuli 11:7
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kubanga Mukama mutuukirivu; ayagala eby'obutuukirivu: Abalina omwoyo ogw'amazima baliraba amaaso ge.
Compare
Explore Zabbuli 11:7
2
Zabbuli 11:4
Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu, Mukama, entebe ye eri mu ggulu; Amaaso ge galaba abaana b'abantu, ebikowe bye bibakema.
Explore Zabbuli 11:4
3
Zabbuli 11:5
Mukama akema abatuukirivu: Naye omubi n'oyo ayagala eby'amaanyi emmeeme ye ebakyawa.
Explore Zabbuli 11:5
4
Zabbuli 11:3
Oba nga emisingi girizikirizibwa, Kiki omutuukirivu ky'ayinza okukola?
Explore Zabbuli 11:3
5
Zabbuli 11:1
Mukama gwe nneesiga: Mugamba mutya emmeeme yange nti Ddukira ku lusozi lwammwe ng'ennyonyi?
Explore Zabbuli 11:1