Zabbuli 10
10
1 #
Zab 13:1; 22:11 Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ai Mukama?
Kiki ekikwekwesezza mu biro eby'ennaku?
2 #
Nge 5:22
Mu malala ag'omubi omwavu ayigganyizibwa nnyo:
Bakwatibwe mu nkwe ze baateesa.
3Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe,
N'omukodo yeegaana, era anyooma Mukama.
4 #
Zab 14:1; 53:1 Omubi mu malala ag'amaaso ge ayogera nti Talivunaana.
Ebirowoozo bye byonna nti Tewali Katonda.
5Amakubo ge makakanyavu ennaku zonna;
Emisango gyo giri waggulu nnyo gy'atayinza kugirabira:
Abalabe be bonna abasooza.
6 #
Kub 18:7
Ayogera mu mutima gwe nti Sirisagaasagana:
Okutuusa emirembe gyonna siriraba nnaku.
7 #
Yob 20:12, Bar 3:14 Akamwa ke kajjudde okukolima n'okulimba n'okujooga:
Wansi w'olulimi lwe waliwo ettima n'obutali butuukirivu:
8Atuula mu mateegero ag'ebyalo:
Mu bwekweko atta abatalina misango:
Amaaso ge agatunuuliza ku munafu mu kyama.
9 #
Yob 38:40, Zab 17:12, Mi 7:2 Yeekweka mu tteegero ng'empologoma mu mpuku yaayo:
Yeekisa okukwata omwavu:
Akwatira ddala omwavu, ng'amuwalulira mu kyambika kye.
10Akutama, akootakoota,
Abasajja be ab'amaanyi ne basuula abanafu.
11 #
Yob 22:13, Zab 94:7, Ez 9:9 Ayogera mu mutima gwe nti
Katonda yeerabidde:
Akweka amaaso ge; tagenda kukiraba.
12 #
Zab 3:7; 9:12,18 Golokoka, ai Mukama; ai Katonda oyimuse omukono gwo:
Teweerabira mwavu.
13Lwaki omubi okunyoomanga Katonda,
N'okwogera mu mutima gwe nti Tolivunaana?
14 #
Zab 33:13; 146:9, 1 Peet 4:19 Walaba; kubanga otunuulira ettima n'obukyayi, okussaako omukono gwo:
Omunafu yeewaayo gy'oli;
Wabanga omubeezi w'abo abataliiko kitaabwe.
15 #
Zab 37:17, Is 41:12 Menya omukono gw'omubi;
Omuntu omubi onoonyeze ddala obubi bwe okutuusa obutabusangamu.
16 #
Kuv 15:18, Zab 29:10, Kub 11:15 Mukama ye kabaka emirembe n'emirembe:
Amawanga gazikiridde mu nsi ye.
17 #
1 Byom 29:18
Mukama, wawulira abawombeefu kye bayagala:
Onooteekateekanga omutima gwabwe, onoowulizanga okutu kwo:
18 #
Zab 9:19; 82:3, Is 1:17 Okusalira omusango abataliiko kitaabwe n'abajoogebwa.
Omuntu, ye w'omu nsi, aleke okubeera n'entiisa.
Currently Selected:
Zabbuli 10: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.