Zabbuli 100
100
Zabbuli ey'okwebaza.
1 #
Zab 66:1; 95:1,2 Muleetere Mukama eddoboozi ery'essanyu, mmwe ensi zonna.
2Mumuweereze Mukama n'essanyu:
Mujje mu maaso ge n'okuyimba.
3 #
1 Bassek 18:39, Yob 10:8,9, Is 43:1, Ez 34:30,31, Bef 2:10 Mumanye nga Mukama ye Katonda:
Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe;
Tuli bantu be, era endiga ez'omu ddundiro lye.
4Muyingire mu miryango gye
n'okwebaza,
Ne mu mpya ze n'okutendereza.
Mumwebaze, mukuze erinnya lye.
5 #
Zab 25:8; 106:1 Kubanga Mukama mulungi; okusaasira kwe kwa lubeerera;
N'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.
Currently Selected:
Zabbuli 100: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.