YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 99

99
1 # Zab 80:1; 93:1; 96:9, Is 24:19 Mukama afuga; amawanga gakankane;
Atuula wakati wa bakerubi; ensi esagaasagane.
2 # Zab 113:4, Is 24:23 Mukama mukulu mu Sayuuni;
Era ali waggulu okusinga amawanga gonna.
3 # Ma 28:58, Yos 24:19, Is 6:3 Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery'entiisa.
Ye mutukuvu.
4 # Ma 32:4, Is 61:8, Yer 23:5 Era amaanyi ga kabaka gaagala omusango ogw'ensonga;
Ggwe onyweza obutuukirivu,
Otuukiriza omusango n'obutuukirivu mu Yakobo.
5 # Kuv 15:2, 1 Byom 28:2, Zab 118:28; 132:7, Is 60:13 Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe,
Era musinzizenga ku ntebe y'ebigere bye:
Ye mutukuvu.
6 # Kuv 17:11, Leev 8:12, 1 Sam 7:9, Yer 15:1 Musa ne Alooni mu bakabona be,
Ne Samwiri mu abo abakoowoola erinnya lye;
Baakaabira Mukama, n'abayitaba.
7 # Kuv 33:9, Kubal 12:5 Yayogerera nabo mu mpagi ey'ekire:
Baakwata bye yategeeza, n'ekiragiro kye yabawa.
8 # Kuv 32:35, Kubal 14:20; 20:12, Ma 9:20 Wabaddamu, ai Mukama Katonda waffe:
Wali Katonda abasonyiwa,
Newakubadde nga wabawalana eggwanga olw'ebikolwa byabwe.
9 # Zab 2:6 Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe,
Musinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu;
Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

Currently Selected:

Zabbuli 99: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 99