YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 101

101
Zabbuli ya Dawudi.
1 # Kuv 34:7 Naayimbanga ku kusaasira ne ku musango:
Ggwe, ai Mukama, gwe nnaayimbiranga okutendereza.
2 # 1 Sam 18:14, 1 Bassek 9:4, Nge 11:20, Yok 14:23 Naatambuliranga n'amagezi mu
kkubo ettuukirivu:
Woowe, olijja gye ndi ddi?
Naatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde.
3 # 1 Sam 12:20 Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange:
Nkyawa omulimu gw'abo abakyama;
Tegwegattenga nange.
4 # Nge 17:20, 2 Tim 2:19 Omutima ogutawulira gulindekera ddala:
Sirimanya kintu kyonna kibi.
5 # Nge 16:5; 21:4 Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'azikirizanga:
Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga.
6 # Zab 119:1, Mat 5:48 Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab'omu nsi, batuulenga wamu nange:
Atambulira mu kkubo ettuukirivu ye anampeerezanga.
7Akola eby'obulimba talituula mu nnyumba yange:
Ayogera ebitali bya mazima talinywera mu maaso gange.
8 # Zab 46:4; 94:4 Buli nkya naazikirizanga ababi bonna ab'omu nsi;
Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 101: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 101