Yobu 42
42
1Awo Yobu n'addamu Mukama n'ayogera nti
2 #
Lub 18:14, Mat 19:26 Mmanyi nga ggwe oyinza byonna,
Era nga tewali kigambo kye wateesa ekiziyizika.
3 #
Zab 40:5; 139:6 Ani ono akisa okuteesa awatali kumanya?
Kyennavudde njatula ebyo bye ssaategedde,
Ebigambo eby'ekitalo ebyannemye bye ssaamanye.
4 #
Yob 38:3; 40:7 Nkwegayiridde, Wulira, nange ka njogere;
Naakubuuza, naawe onziremu.
5Nali nkuwuliddeko n'okuwulira kw'okutu;
Naye kaakano eriiso lyange likulaba,
6 #
Lub 18:27, Kubal 23:1, 1 Sam 12:23, Yob 1:5, Yak 5:16, 1 Yok 5:16 Kyenvudde neetamwa ne nneenenya
Mu nfuufu n'evvu.
7Awo olwatuuka Mukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo ebyo, Mukama n'agamba Erifaazi Omutemani nti Obusungu bwange bukubuubuukidde ggwe ne banno bombi: kubanga temunjogeddeeko ekigambo ekirina ensonga, ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde. 8#Lub 20:7, Kubal 23:1, 1 Sam 12:23, Yob 1:5, Yak 5:16, 1 Yok 5:16Kale nno mwetwalire ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwayo ekyokebwa; era omuddu wange Yobu anaabasabira; kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng'obusirusiru bwammwe bwe buli; kubanga temunjogeddeko kigambo ekirina ensonga ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde. 9Awo Erifaazi Omutemani ne Birudaadi Omusuki ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bw'abalagidde: kale Mukama n'akkiriza Yobu. 10#Zab 14:7, Is 61:7Awo Mukama n'akyusa obusibe bwa Yobu, bwe yasabira mikwano gye: Mukama n'awa Yobu okusinga emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye. 11#Lub 24:22, Yob 19:13Awo baganda be bonna ne bajja gy'ali ne bannyina bonna n'abo bonna be yamanyagananga nabo olubereberye, ne baliira emmere wamu naye mu nnyumba ye: ne bamukaabira ne bamukubagiza olw'obubi bwonna Mukama bwe yamuleetako: era buli muntu n'amuwa ekitundu ekya ffeeza, na buli muntu empeta eya zaabu. 12#Yob 1:3; 8:7; 42:10Awo Mukama n'awa omukisa enkomerero ya Yobu okukira entandikwa ye: n'aba n'endiga kakumi mu enkumi nnya, n'eŋŋamira kakaaga, n'emigogo gy'ente lukumi n'endogoyi enkazi lukumi. 13Era yalina abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu. 14N'ow'olubereberye n'amutuuma erinnya Yemima; n'ow'okubiri erinnya lye Keeziya; n'ow'okusatu erinnya lye Kerenukappuki. 15#Kubal 27:1-8Awo mu nsi yonna ne watalabika abakazi abalungi okwenkana abawala ba Yobu: kitaabwe n'abawa obusika mu baganda baabwe. 16#Lub 50:23, Zab 128:6Awo oluvannyuma lw'ebyo Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana, n'alaba batabani be n'abaana ba batabani be, bannakasatwe. 17#Yob 5:26Awo Yobu n'afa nga mukadde ng'awezezza ennaku nnyingi.
Currently Selected:
Yobu 42: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.