1
Zabbuli 1:1-2
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula ku ntebe y'abanyooma. Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.
Compare
Explore Zabbuli 1:1-2
2
Zabbuli 1:3
Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, Era amalagala gaagwo tegawotoka; Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.
Explore Zabbuli 1:3
3
Zabbuli 1:6
Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu: Naye ekkubo ly'ababi liribula.
Explore Zabbuli 1:6