Okubala 20
20
1 #
Kubal 12:1; 33:36 Awo abaana ba Isiraeri, ekibiina kyonna, ne batuuka mu ddungu lya Zini mu mwezi ogw'olubereberye: abantu ne batuula mu Kadesi; Miryamu n'afiira eyo n'aziikibwa eyo. 2#Kuv 17:1, Kubal 16:42Ne wataba mazzi ga kibiina: ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne ku Alooni. 3#Kubal 11:1,33; 16:49Abantu ne bawakana ne Musa ne boogera nti Singa twafa baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama! 4#Kuv 17:3Era mwaleetera ki ekibiina kya Mukama mu ddungu muno, tufiire omwo, ffe n'ebisibo byaffe? 5Era mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okutuyingiza mu kifo kino ekibi? si kifo kya nsigo, so si kya ttiini, so si kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga; so tewali mazzi ga kunywa. 6Musa ne Alooni ne bava mu maaso g'ekibiina ne bagenda ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, ne bavuunama amaaso gaabwe: ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira.
7Mukama n'agamba Musa 8#Kuv 17:5, Zab 78:15,16nti Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ggwe ne Alooni muganda wo, mugambire olwazi mu maaso gaabwe, luleete amazzi gaalwo; onobaggira amazzi mu lwazi: bw'otyo bw'onoonywesa ekibiina n'ebisibo byabwe. 9Musa n'addira omuggo ng'aguggya mu maaso ga Mukama, nga bwe yamulagira. 10#Zab 106:32,33Musa ne Alooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi, n'abagamba nti Muwulire nno, mmwe abajeemu; ffe tunaabaggira amazzi mu lwazi muno? 11#Kuv 17:6Musa n'ayimusa omukono gwe, n'akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri: amazzi mangi ne gavaamu, ekibiina ne banywa n'ebisibo byabwe. 12Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Kubanga temunzikirizza, okuntukuza mu maaso g'abaana ba Isiraeri, kyemuliva mulema okuyingiza ekibiina kino mu nsi gye mbawadde. 13#Kuv 17:7, Kubal 27:14, Ma 1:37; 32:51Ago ge mazzi ag'e Meriba; kubanga abaana ba Isiraeri baawakana ne Mukama, n'atukuzibwa mu bo.
14 #
Balam 11:16,17, Ob 10,12 Musa n'atuma ababaka ng'ayima e Kadesi eri Kabaka w'e Edomu, nti Bw'atyo bw'ayogera Isiraeri muganda wo, nti Omanyi ennaku zonna ezaatubaako: 15#Lub 46:6, Kuv 1:11; 12:40bakitaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumala mu Misiri ebiro bingi; Abamisiri ne batukola bubi ne bakitaffe: 16#Kuv 2:23; 3:2,7; 14:19awo bwe twakaabira Mukama, n'awulira eddoboozi lyaffe, n'atuma malayika, n'atuggya mu Misiri: era, laba, tuli mu Kadesi ekibuga ekiri ku nsalo yo enkomerero: 17ka tuyite, nkwegayiridde, mu nsi yo: tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi: tunaatambuliranga mu luguudo lwa kabaka, tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tuliyita ku nsalo yo. 18Edomu n'amugamba nti Toliyita mu nze, nneme okukutabaala n'ekitala. 19#Ma 2:6,28Abaana ba Isiraeri ne bamugamba nti Tulirinnyira mu luguudo: bwe tunaanywanga ku mazzi go, nze n'ebisibo byange, kale n'awanga omuwendo gwago: ka mpitemu buyisi n'ebigere. 20N'agamba nti Toliyitamu. Edomu n'amutabaala n'eggye lingi, n'omukono ogw'amaanyi. 21#Ma 2:27,29, Balam 11:18Bw'atyo Edomu n'agaana okuyisa Isiraeri mu nsalo ye: Isiraeri kyeyava akyuka okuva gy'ali.
22 #
Kubal 33:37
Ne basitula e Kadesi ne batambula: abaana ba Isiraeri, ekibiina kyonna, ne batuuka ku lusozi Koola. 23Mukama n'agambira Musa ne Alooni ku lusozi Koola, ku nsalo yensi ya Edomu, ng'ayogera 24nti Alooni anaakuŋŋaanyizibwa eri abantu be: kubanga taliyingira mu nsi gye mpadde abaana ba Isiraeri, kubanga mwajeemera ekigambo kyange ku mazzi ag'e Meriba. 25Twala Alooni ne Eriyazaali mutabani we, obalinnyise ku lusozi Koola: 26Alooni omwambuleko ebyambalo bye, obimwambaze Eriyazaali mutabani we: kale Alooni anaakuŋŋaanyizibwa eri abantu be, era anaafiira eyo. 27Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira: ne balinnya ku lusozi Koola mu maaso g'ekibiina kyonna. 28#Kuv 29:29,30, Kubal 33:38,39, Ma 10:6Musa n'ayambula Alooni ebyambalo bye, n'abyambaza Eriyazaali mutabani we; Alooni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi: Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bava ku lusozi. 29#Ma 34:8Awo ekibiina kyonna bwe baalaba nga Alooni afudde, ne bamala ennaku asatu nga bakaabira Alooni, ennyumba ya Isiraeri yonna.
Currently Selected:
Okubala 20: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.