1
Okubala 20:12
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Kubanga temunzikirizza, okuntukuza mu maaso g'abaana ba Isiraeri, kyemuliva mulema okuyingiza ekibiina kino mu nsi gye mbawadde.
Compare
Explore Okubala 20:12
2
Okubala 20:8
nti Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ggwe ne Alooni muganda wo, mugambire olwazi mu maaso gaabwe, luleete amazzi gaalwo; onobaggira amazzi mu lwazi: bw'otyo bw'onoonywesa ekibiina n'ebisibo byabwe.
Explore Okubala 20:8
3
Okubala 20:11
Musa n'ayimusa omukono gwe, n'akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri: amazzi mangi ne gavaamu, ekibiina ne banywa n'ebisibo byabwe.
Explore Okubala 20:11
4
Okubala 20:10
Musa ne Alooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi, n'abagamba nti Muwulire nno, mmwe abajeemu; ffe tunaabaggira amazzi mu lwazi muno?
Explore Okubala 20:10