Okubala 19
19
1Mukama n'agamba Musa ne Alooni 2#Ma 21:3, 1 Sam 6:7nti Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama kye yalagira ng'agamba nti Gamba abaana ba Isiraeri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko bbala, eteriiko bulema, eteteekebwangako kikoligo: 3era munaagiwanga Eriyazaali kabona, naye anaagifulumyanga ebweru w'olusiisira, ne bagittira mu maaso ge: 4#Leev 4:6,17awo Eriyazaali kabona anaatoolanga ku musaayi gwayo n'engalo ye, n'amansira ku musaayi gwayo okwolekera obwenyi bw'eweema ey'okusisinkanirangamu emirundi musanvu: 5#Kuv 29:14, Leev 4:11,12ne bookera ente mu maaso ge; eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'omusaayi gwayo wamu n'obusa bwayo anaabyokyanga: 6#Leev 14:4kabona n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu, n'abissuula wakati ente w'eyokerwa. 7#Leev 15:5; 16:28Awo kabona anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, n'alyoka ayingira mu lusiisira, kabona n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 8N'oyo anaagyokyanga anaayozanga engoye ze mu mazzi, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 9#Leev 6:11 N'omuntu omulongoofu anaayoolanga evvu ly'ente, n'alitereka ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, era linaakuumirwanga ekibiina ky'abaana ba Isiraeri okuba amazzi ag'okwawula: ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi. 10N'oyo anaayoolanga evvu ly'ente anaayozanga engoye ze, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi atuula mu bo etteeka eritaliggwaawo. 11Anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu: 12#Kubal 31:19oyo aneerongoosanga nago ku lunaku olw'okusatu, ne ku lunaku olw'omusanvu anaabanga mulongoofu: naye bw'anaalemanga okwerongoosa ku lunaku olw'okusatu, kale ku lunaku olw'omusanvu taabenga mulongoofu. 13#Leev 15:31; 22:3Buli anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna afudde, n'ateerongoosa, ng'ayonoona ennyumba ya Mukama; n'obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu Isiraeri: kubanga teyamansirwako mazzi ga kwawula, anaabanga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe nga bukyali ku ye. 14Lino lye tteeka omuntu bw'anaafiiranga mu weema: buli anaayingiranga mu weema na buli anaabanga mu weema, anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu. 15Na buli kintu kyasaamiridde, ekitaliiko kisaanikizo ekisibibwa ku kyo, si kirongoofu. 16Na buli anaakomanga ku ttale ebweru ku muntu eyattibwa n'ekitala oba ku mulambo oba ku ggumba ly'omuntu oba ku malaalo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu. 17#Beb 9:13N'olw'atali mulongoofu banaatoolanga ku vvu ery'ekiweebwayo olw'ekibi ekyokebwa, ne bafukako amazzi agakulukuta mu kibya: 18#Kuv 12:22, Zab 51:7n'omuntu omulongoofu anaddiranga ezobu, n'aginnyika mu mazzi, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byonna, ne ku bantu abaalimu, ne ku oyo eyakoma ku ggumba oba ku oyo eyattibwa oba ku mufu oba ku malaalo: 19#Leev 14:9n'omulongoofu oyo anaamansiranga ku atali mulongoofu ku lunaku olw'okusatu ne ku lunaku olw'omusanvu: ne ku lunaku olw'omusanvu anaamulongoosanga; awo anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba mulongoofu akawungeezi. 20Naye omuntu anaabanga atali mulongoofu n'ateerongoosa, obulamu obwo bunaazikirizibwanga wakati mu kibiina, kubanga ayonoonye awatukuvu wa Mukama: amazzi ag'okwawula tegamansiddwa ku ye; si mulongoofu. 21Era linaabanga tteeka gye bali eritaliggwaawo: n'oyo anaamansiranga amazzi ag'okwawula anaayozanga engoye ze; n'oyo anaakomanga ku mazzi ag'okwawula anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22#Kag 2:13, Ma 23:7Na buli kintu atali mulongoofu ky'anaakomangako kinaabanga ekitali kirongoofu: n'obulamu obunaakikomangako bunaabanga obutali bulongoofu okutuusa akawungeezi.
Currently Selected:
Okubala 19: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.