YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 14

14
1 # Mak 6:14,17-29, Luk 9:7-9, Luk 3:19,20 Mu biro biri Kerode owessaza n'awulira ettutumu lya Yesu, 2n'agamba abaddu be nti Oyo ye Yokaana Omubatiza; azuukidde mu bafu; era eby'amaanyi bino kyebiva bikolera mu ye. 3#Mat 11:2Kubanga Kerode yali akutte Yokaana, n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa Firipo muganda we. 4#Leev 18:16; 20:21Kubanga Yokaana yamugamba nti Kya muzizo ggwe okubeera naye. 5#Mat 21:26Bwe yali ayagala okumutta, n'atya abantu, kubanga baamulowooza nga ye nnabbi. 6Bwe lwatuuka olw'okujjukira amazaalibwa ga Kerode, omuwala wa Kerodiya n'azina mu maaso gaabwe, n'asanyusa Kerode. 7Awo n'alayira n'asuubiza okumuwa kyonna kyonna ky'anaasaba. 8Naye, bwe yaweererwa nnyina, n'agamba nti Mpeera wano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza. 9Kabaka n'alumwa; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo abaali batudde nga balya naye, n'alagira okugumuwa; 10#Mat 17:12n'atuma, n'atemako Yokaana omutwe mu kkomera. 11Ne baleeta omutwe gwe mu lutiba, ne baguwa omuwala: n'agutwalira nnyina. 12Abayigirizwa be ne bajja, ne basitula omulambo, ne bamuziika; ne bagenda ne babuulira Yesu.
13 # Mak 6:31-44, Luk 9:10-17, Yok 6:1-13 Awo, Yesu bwe yawulira, n'aviirayo mu lyato, n'agenda awali eddungu kyama: ebibiina bwe byawulira, ne biva mu bibuga ne bimugoberera nga biyita ku lukalu. 14#Mat 9:36N'avaayo, n'alaba ekibiina kinene, n'abasaasira, n'awonya abalwadde baabwe. 15Bwe bwawungeera, abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bagamba nti Wano ddungu, obudde buyise nnyo; siibula abantu, bagende mu bibuga, beegulire emmere. 16Naye Yesu n'abagamba nti Tewali kibazzisaayo; mmwe mubawe ebyokulya. 17Ne bamugamba nti Tetulina kintu wano wabula emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri. 18N'agamba nti Mubindeetere wano. 19N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atwala emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina. 20#2 Bassek 4:44Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebibbo kkumi na bibiri ebyajjula. 21N'abo abaalya baali abasajja ng'enkumi ttaano, abakazi n'abaana obutabassaako.
22 # Mak 6:45-56, Yok 6:15-21 Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa okusaabala, bamukulembere okugenda emitala w'eri, amale okusiibula ebibiina. 23#Luk 6:12; 9:18Bwe yamala okusiibula ebibiina, n'alinnya ku lusozi yekka okusaba: obudde bwe bwawungeera, yaliyo bw'omu. 24Naye eryato lyali limaze okutuuka mu buziba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwabafuluma mu maaso. 25Awo ekiro mu kisisimuka eky'okuna n'ajja gye bali, ng'atambula ku nnyanja. 26#Luk 24:37Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne beeraliikirira, ne bagamba nti Dayimooni; ne beekanga nga batya. 27Amangu ago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti Muddeemu omwoyo: nze nzuuno; temutya. 28Peetero n'amuddamu n'agamba nti Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira njije gy'oli ku mazzi. 29N'agamba nti Jjangu. Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku mazzi, okugenda eri Yesu. 30Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya: n'atanula okusaanawo, n'akaaba, n'agamba nti Mukama wange, ndokola. 31#Mat 8:26Amangu ago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti Ggwe alina okukkiriza okutono, kiki ekikubuusizzabuusizza? 32Bwe baalinnya mu lyato, omuyaga ne guggwaawo. 33N'abo abaali mu lyato ne bamusinza, nga bagamba nti Mazima oli Mwana wa Katonda.
34Bwe baamala okuwunguka, ne batuuka ku lukalu olw'e Genesaleeti. 35Abantu baayo bwe baamumanya, ne batuma mu nsi eyo yonna eriraanyeewo, ne bamuleetera bonna abalwadde; 36#Mat 9:21, Luk 6:19ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaakomako ne bawonyezebwa ddala.

Currently Selected:

Matayo 14: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in