1
Matayo 14:30-31
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya: n'atanula okusaanawo, n'akaaba, n'agamba nti Mukama wange, ndokola. Amangu ago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti Ggwe alina okukkiriza okutono, kiki ekikubuusizzabuusizza?
Compare
Explore Matayo 14:30-31
2
Matayo 14:30
Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya: n'atanula okusaanawo, n'akaaba, n'agamba nti Mukama wange, ndokola.
Explore Matayo 14:30
3
Matayo 14:27
Amangu ago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti Muddeemu omwoyo: nze nzuuno; temutya.
Explore Matayo 14:27
4
Matayo 14:28-29
Peetero n'amuddamu n'agamba nti Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira njije gy'oli ku mazzi. N'agamba nti Jjangu. Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku mazzi, okugenda eri Yesu.
Explore Matayo 14:28-29
5
Matayo 14:33
N'abo abaali mu lyato ne bamusinza, nga bagamba nti Mazima oli Mwana wa Katonda.
Explore Matayo 14:33
6
Matayo 14:16-17
Naye Yesu n'abagamba nti Tewali kibazzisaayo; mmwe mubawe ebyokulya. Ne bamugamba nti Tetulina kintu wano wabula emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.
Explore Matayo 14:16-17
7
Matayo 14:18-19
N'agamba nti Mubindeetere wano. N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atwala emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina.
Explore Matayo 14:18-19
8
Matayo 14:20
Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebibbo kkumi na bibiri ebyajjula.
Explore Matayo 14:20