YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 15

15
1 # Mat 7:1-23 Awo ne bajja eri Yesu Abafalisaayo n'abawandiisi abaava mu Yerusaalemi, nga bagamba nti 2#Ma 4:2, Luk 11:38Abayigirizwa bo kiki ekiboonoonyesa obulombolombo bwe twaweebwa abakadde? kubanga tebanaaba mu ngalo nga balya emmere. 3N'addamu n'abagamba nti Nammwe kiki ekiboonoonyesa etteeka lya Katonda olw'obulombolombo bwe mwaweebwa? 4#Kuv 20:12; 21:17, Ma 5:16Kubanga Katonda yagamba nti Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: nate nti Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi. 5Naye mmwe mugamba nti Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda, 6alireka okussaamu ekitiibwa kitaawe. Mwadibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. 7#Is 29:13Mmwe bannanfuusi, Isaaya yalagula bulungi ku mmwe, ng'agamba nti
8Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa;
Naye omutima gwabwe gundi wala.
9Naye bansinziza bwereere,
Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.
10N'ayita ekibiina, n'abagamba nti Muwulire, mutegeere: 11#Mat 12:34, 1 Tim 4:4ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu; naye ekiva mu kamwa, ekyo kye kyonoona omuntu. 12Awo abayigirizwa ne bajja, ne bamugamba nti Omanyi Abafalisaayo nga baanyiiga, bwe baawulira ekigambo ekyo? 13#Yok 15:2Naye n'addamu n'agamba nti Buli kisimbe Kitange ow'omu ggulu ky'ataasimba, kirisimbulibwa. 14#Mat 23:24, Luk 6:39, Yok 9:40, Bar 2:19Mubaleke: be basaale abatalaba. Naye omuzibe w'amaaso bw'akulembera muzibe munne, bombi baligwa mu bunnya. 15Peetero n'addamu n'amugamba nti Tunnyonnyole olugero olwo. 16Naye n'agamba nti Era nammwe temunnaba kuba na magezi? 17Temutegeera nti buli ekiyingira mu kamwa kigenda mu lubuto, ne kisuulibwa mu kiyigo? 18Naye ebifuluma mu kamwa biva mu mutima; n'ebyo bye byonoona omuntu. 19#Lub 8:21Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okuvuma: 20ebyo bye byonoona omuntu: naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoona muntu.
21 # Mak 7:24-30 Yesu n'avaayo, n'agenda ku njuyi z'e Ttuulo n'e Sidoni. 22Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava ku mbibi eyo, n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Onsaasire, Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni. 23Naye n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti Musiibule; kubanga atuleekaanira emabega. 24#Mat 10:6Naye n'addamu n'agamba nti Saatumibwa wabula eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri. 25Naye n'ajja, n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mbeera. 26N'addamu n'agamba nti Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'okugisuulira obubwa. 27Naye n'agamba nti Weewaawo, Mukama wange: kubanga n'obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo. 28#Mat 8:10,13Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene: kibeere gy'oli nga bw'oyagala. Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo.
29 # Mak 7:31 Yesu n'avaayo, n'ajja ku ttale ly'ennyanja y'e Ggaliraaya; n'alinnya ku lusozi, n'atuula okwo. 30Ebibiina bingi ne bijja gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaaso, ne bakasiru, n'abalema, n'abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n'abawonya: 31#Mak 7:37ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaaso nga balaba: ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.
32 # Mat 14:14 # Mak 8:1-10 Yesu n'ayita abayigirizwa be, n'agamba nti Nsaasira abantu, kubanga leero baakamala nange ennaku ssatu nga tebalina kya kulya: n'okubasiibula nga balina enjala sikyagala, wozzi banaazirikira mu kkubo. 33Abayigirizwa ne bamugamba nti Tunaggya wa emigaati emingi bwe giti mu ddungu, okukkusa ekibiina ekinene ekyenkana wano? 34Yesu n'abagamba nti Mulina emigaati emeka? Ne bagamba nti Musanvu, n'ebyennyanja ebitono si bingi. 35N'alagira ekibiina okutuula wansi; 36n'atoola emigaati musanvu n'ebyennyanja; ne yeebaza n'amenyamu n'awa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina. 37Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebisero musanvu ebyajjula. 38N'abo abaalya baali abasajja enkumi nnya, abakazi n'abaana obutabassaako. 39N'asiibula ebibiina, n'asaabala mu lyato, n'ajja mu mbibi y'e Magadani.

Currently Selected:

Matayo 15: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in