YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 13

13
1Ku lunaku olwo Yesu n'afuluma mu nju, n'atuula ku mabbali g'ennyanja. 2#Mak 4:1-20, Luk 8:4-15Ebibiina bingi ne bimukuŋŋaanirako, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula; ekibiina kyonna ne kiyimirira ku ttale. 3N'ayogera nabo bingi mu ngero, ng'agamba nti Laba, omusizi yafuluma okusiga; 4bwe yali ng'asiga, ensigo endala ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya: 5endala ne zigwa awali enjazi, awatali ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga tezaalina ttaka ggwanvu: 6enjuba bwe yavaayo, ne ziwotookerera; kubanga tezaalina mmizi, ne zikala. 7Endala ne zigwa ku maggwa; amaggwa ne gamera, ne gazizisa: 8endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala emmere, endala kikumi, endala nkaaga, endala makumi asatu. 9Alina amatu, awulire.
10Abayigirizwa ne bajja ne bamugamba nti Kiki ekikwogeza nabo mu ngero? 11N'addamu n'abagamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu, naye bo tebaweereddwa. 12#Mat 25:29, Mak 4:25, Luk 8:18Kubanga buli alina, aliweebwa, era alisukkirirawo: naye buli atalina, aliggibwako ne ky'ali nakyo. 13#Ma 29:4Kyenva njogera nabo mu ngero; kubanga bwe balaba tebalaba, bwe bawulira, tebawulira, so tebategeera. 14#Is 6:9,10, Yok 12:40, Bik 28:26,27Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti
Muliwulira buwulizi, naye temulitegeera;
Muliraba bulabi, naye temulyetegereza:
15Kuba omutima gw'abantu bano gusavuwadde,
N'amatu gaabwe gawulira bubi,
N'amaaso gaabwe bagazibye;
Baleme okulaba n'amaaso, n'okuwulira n'amatu,
N'okutegeera n'omutima,
N'okukyuka,
Ne mbawonya.
16 # Luk 10:23,24 Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe, kubanga gawulira. 17Kubanga mazima mbagamba nti Bannabbi bangi n'abantu abatuukirivu abeegombanga okulaba bye mutunuulira, so tebaabiraba; n'okuwulira bye muwulira, so tebaabiwulira. 18Kale mmwe muwulire olugero lw'omusizi. 19Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu mutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo. 20N'oyo eyasigibwa awali enjazi, ye oyo awulira ekigambo, amangu ago n'akikkiriza n'essanyu; 21naye talina mmizi munda mu ye, naye alwawo katono; bwe wabaawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala. 22#Mat 6:19-34, 1 Tim 6:9N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira kw'ensi, n'obulimba bw'obugagga bizisa ekigambo, era tabala. 23N'oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi, ye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo ddala abala ddala ebibala, omulala aleeta kikumi, omulala nkaaga, omulala makumi asatu.
24 # Mat 13:36-43 Awo n'abaleetera olugero olulala n'ayogera nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye: 25naye abantu bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu eŋŋaano ey'omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n'agenda. 26Naye bwe yameruka, bwe yayanya, n'erabika n'eŋŋaano ey'omu nsiko. 27Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? kale yali etya okubaamu eŋŋaano ey'omu nsiko? 28N'abagamba nti Omulabe ye yakola atyo. Abaddu ne bamugamba nti Kale oyagala tugende tugikoolemu? 29Naye n'agamba nti Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey'omu nsiko, munaggiramu n'eŋŋaano yennyini. 30#Mat 3:12Muleke bikule byombi bituuse amakungula: mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe: naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.
31 # Mak 4:30-32, Luk 13:18,19 N'abaleetera olugero olulala, ng'agamba nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'akaweke ka kaladaali, omuntu ke yaddira, n'akasiga mu nnimiro ye: 32nako nga ke katono okusinga ensigo zonna; naye bwe kaakula, ne kaba kanene okusinga omuddo gwonna, ne kaba omuti, n'ennyonyi ez'omu bbanga nga zijja, nga zibeera ku matabi gaagwo.
33 # Luk 13:20,21 N'abagamba olugero olulala nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akissa mu bubbo busatu obw'obutta, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna.
34 # Mak 4:33,34 Ebigambo ebyo byonna Yesu yabigamba ebibiina mu ngero; naye awatali lugero teyabagamba kigambo: 35#Zab 78:2kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng'agamba nti
Ndyasamya akamwa kange mu ngero;
Ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.
36 # Mat 13:24-30 Awo n'asiibula ebibiina, n'ayingira mu nju: abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti Tutegeeze olugero olw'eŋŋaano ey'omunsiko eyali mu nnimiro. 37N'addamu n'agamba nti Asiga ensigo ennungi ye Mwana w'omuntu; 38#1 Kol 3:9ennimiro ye nsi; ensigo ennungi, abo be baana b'obwakabaka; n'eŋŋaano ey'omu nsiko be baana b'omubi; 39omulabe eyagisiga ye Setaani: amakungula ye nkomerero y'ensi; n'abakunguzi be bamalayika. 40#Yok 15:6Kale ng'eŋŋaano ey'omu nsiko bw'ekuŋŋaanyizibwa n'eyokebwa mu muliro; bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi. 41#Zef 1:3, Mat 25:31-46; 7:23Omwana w'omuntu alituma bamalayika be, nabo baliggyamu mu bwakabaka bwe ebintu byonna ebisittaza, n'abo abakola obubi, 42#Mat 8:12balibasuula mu kikoomi eky'omuliro: mwe muliba okukaaba amaziga n'okuluma obujiji. 43#Dan 12:3Kale abantu abatuukirivu balimasamasa ng'enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu, awulire.
44 # Mat 19:29, Luk 14:33, Baf 3:7, Nge 2:4 Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu n'akiraba, n'akikweka; n'olw'essanyu lye n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo:
45Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu omutunzi anoonya eruulu ennungi: 46#Nge 8:10,11bwe yalaba eruulu emu ey'omuwendo omungi, n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agigula.
47 # Mat 22:9,10 Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya ebya buli ngeri: 48bwe kyajjula, ne bakiwalulira ku ttale; ne batuula, ne bakuŋŋaanyiza ebirungi mu nkanga, ebibi ne babisuula. 49#Mat 25:32#Mat 25:32Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi: bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu, 50balibasuula mu kikoomi eky'omuliro: mwe muliba okukaaba amaziga n'okuluma obujiji.
51Mubitegedde ebigambo bino byonna? Ne bamugamba nti Weewaawo. 52N'abagamba nti Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby'obwakabaka obw'omu ggulu, kyava afaanana n'omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n'ebikadde.
53 # Luk 4:15-30 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala engero zino, n'avaayo. 54#Mat 7:28; 11:1; 19:1; 26:1Bwe yatuuka mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bagamba nti Ono yaggya wa amagezi gano, n'eby'amaanyi bino? 55Ono si ye mwana w'omubazzi? nnyina si gwe bayita Malyamu? ne baganda be Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni, ne Yuda? 56#Yok 7:15,52Ne bannyina bonna tebali waffe? Kale ono yaggya wa ebigambo bino byonna? 57#Yok 4:44Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe. 58So teyakolayo bya magero bingi olw'obutakkiriza bwabwe.

Currently Selected:

Matayo 13: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in