Yobu 34
34
1Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti
2Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab'amagezi;
Era mutege okutu gye ndi, mmwe abalina okutegeera.
3 #
Yob 12:11
Kubanga okutu kukema ebigambo,
Ng'amatama bwe galega ku mmere.
4 #
1 Bas 5:21
Twerondere ekyo ekinaaba eky'ensonga:
Tumanye fekka na fekka ebirungi bwe biri.
5 #
Yob 27:2; 33:9 Kubanga Yobu ayogedde nti Nze ndi mutuukirivu,
Era nti Katonda anziyeeko ensonga yange:
6 #
Yob 6:4, Zab 38:2 Newakubadde nga nnina ensonga mpitibwa mulimba;
Ekiwundu kyange tekiwonyezeka, newakubadde nga ssiriiko kusobya.
7 #
Yob 15:16
Muntu ki afaanana Yobu,
Anywa okunyoomebwa ng'amazzi?
8 #
Zab 1:1
Atambulira awamu n'abakola ebitali bya butuukirivu,
Era atambulira awamu n'abasajja ababi.
9 #
Yob 9:22; 21:15; 35:3, Mal 3:14 Kubanga ayogedde nti Omuntu tekiriiko kye kimugasa Okusanyukira Katonda.
10 #
Lub 18:25, Ma 32:4, Zab 92:15, Bar 9:14 Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera:
Kiddire eri awali Katonda, ye okukola obubi;
N'awali Omuyinza w'ebintu byonna, ye okukola ebitali bya butuukirivu.
11 #
Zab 62:12, Yer 17:10, Ez 33:20, Mat 16:27, Bar 2:6, 2 Kol 5:10, 1 Peet 1:17, Kub 22:12 Kubanga alisasula omuntu omulimu gwe,
Era alirabya buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.
12 #
Yob 8:3
Weewaawo, mazima Katonda taakolenga bubi,
So n'Omuyinza w'ebintu byonna taalyenga nsonga.
13 #
Yob 38:4-7
Ani eyamuteresa ensi okugikuuma?
Oba ani eyateekateeka ebintu byonna bwe byenkana?
14 #
Zab 104:29; 146:4 Bw'ateeka omutima gwe ku bantu,
Bw'akuŋŋaanyiza gy'ali omwoyo gwe n'omukka gwe;
15 #
Lub 2:7; 3:19 Byonna ebirina omubiri birizikiririra wamu,
Abantu ne badda mu nfuufu.
16Kale oba olina okutegeera, wulira kino:
Wulira eddoboozi ly'ebigambo byange.
17Akyawa eby'ensonga oyo alifuga?
Era onoosalira oyo omutuukirivu era ow'amaanyi okumusinga?
18 #
Kuv 22:28
Kirungi okugamba kabaka nti Ggwe oli mugwagwa?
Oba abakungu nti Mmwe muli babi?
19 #
Ma 10:17, Yob 31:15, Bik 10:34, Bef 6:9, Bak 3:25, Yak 2:5, 1 Peet 1:17 Okusinga ennyo si kirungi okugamba oyo atatya maaso ga balangira,
So talowooza mugagga okusinga omwavu?
Kubanga bonna mulimu gwa mikono gye.
20 #
Yob 21:13; 27:20, Kung 4:6, Dan 8:25 Bafa mu kaseera akatono, mu ttuntu;
Abantu bakankanyizibwa ne bayitawo,
N'ab'amaanyi baggibwawo awatali mukono.
21 #
Yob 31:4
Kubanga amaaso ge gatunuulira amakubo ag'omuntu,
Era alaba okutambula kwe kwonna.
22 #
Zab 139:12, Am 9:2,3, Beb 4:13 Tewali kizikiza newakubadde ekisiikirize eky'okufa,
Abakola ebitali bya butuukirivu we bayinza okwekweka.
23Kubanga teyeetaaga kweyongera kulowooza omuntu,
Atuuke mu maaso ga Katonda okusalirwa omusango.
24 #
Yob 5:9; 8:19, Zab 2:9 Amenyamenya abasajja ab'amaanyi mu ngeri etenoonyezeka,
Era assaawo abalala mu kifo kyabwe.
25Kyava alabirira emirimu gyabwe;
Era abavuunika kiro n'okuzikirizibwa ne bazikirizibwa.
26Abakuba ng'ababi
Mu maaso g'abalala aweeru;
27 #
1 Sam 15:11, Zab 28:5, Is 5:12 Kubanga bakyama obutamugoberera,
So tebayagala kussaayo mwoyo eri amakubo ge gonna:
28 #
Kuv 3:7; 22:23, Yob 35:9, Yak 5:4 N'okutuusa ne batuusa gy'ali okukaaba kw'omwavu,
N'awulira okukaaba kw'abo ababonyaabonyezebwa.
29 #
Zab 94:13
Ye bw'awa okutereera, kale ani ayinza okusala omusango okusinga?
Era ye bw'akweka amaaso ge, kale ani ayinza okumutunuulira?
Oba nga ggwanga oba nga muntu, kyonna bwe bumu:
30Omusajja atamanyi Katonda alemenga okufuga,
Walemenga okubaawo anaateega abantu.
31Kubanga waliwo eyali agambye Katonda, nti
Mbonerezebbwa, sikyasobya nate:
32 #
Yob 35:11; 36:22, Zab 86:11 Kye ssiraba kinjigirize:
Oba nga nkoze obujeemu ssikyabukola nate?
33 #
Yob 33:32
Empeera ye eriba nga ggwe bw'oyagala n'okugaana n'ogigaana?
Kubanga ggwe oba weeroboza so si nze:
Kale yogera ekyo ky'omanyi.
34Abantu abalina okutegeera baliŋŋamba nti
Weewaawo, buli muntu ow'amagezi ampulira, anaŋŋamba nti
35 #
Yob 35:16
Yobu ayogera nga talina kumanya,
N'ebigambo bye tebiriimu magezi,
36Yobu singa akemeddwa okutuusa enkomerero,
Kubanga ayanukula ng'abantu ababi.
37 #
Yob 27:23
Kubanga ayongera obujeemu ku kwonoona kwe,
Akuba mu ngalo ze ng'ayima wakati mu ffe,
Era ayongerayongera ebigambo bye okuwakanya Katonda.
Currently Selected:
Yobu 34: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.