YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 33

33
1Naye, Yobu, nkwegayiridde, wulira okwogera kwange,
Era tega okutu kwo eri ebigambo byange byonna.
2Laba nno, njasamye akamwa kange,
Olulimi lwange lwogedde mu kamwa kange.
3Ebigambo byange binaayatula obugolokofu bw'omutima gwange;
N'emimwa gyange bye gimanyi bye ginaayogera awatali bukuusa.
4 # Lub 2:7, Ez 37:9, Bik 17:25 Omwoyo gwa Katonda gwe gwankola,
N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gwe gumpa obulamu.
5 # Yob 23:4, Zab 22:17 Oba oyinza, nziraamu:
Liraanya ebigambo byo mu maaso gange, oyimirire wakati.
6 # Yob 4:19 Laba, ndi awali Katonda era nga ggwe bw'oli:
Era nange nabumbibwa okuva mu ttaka.
7 # Yob 9:34; 13:21; 23:2 Laba, entiisa yange teekukange,
So n'okunyigiriza kwange tekuukuzitoowerere.
8Mazima oyogedde nze nga mpulira,
Nange mpulidde eddoboozi ly'ebigambo byo ng'oyogera nti
9 # Yob 13:18; 27:5; 29:14 Ndi mulongoofu nga ssiriiko kusobya;
Ssiriiko musango, so mu nze temuli butali butuukirivu:
10 # Yob 13:24 Laba, anziyako ensonga,
Ampita mulabe we;
11 # Yob 13:27 Ateeka ebigere byange mu nvuba,
Alabirira amakubo gange gonna.
12Laba, naakuddamu, mu ekyo tolina nsonga;
Kubanga Katonda asinga omuntu obukulu.
13 # Yob 9:12; 40:2 Kiki ekikuwakanya naye?
Kubanga tabalirira muwendo gwa bigambo bye byonna.
14 # 1 Sam 3:4,6, Yob 4:13, Zab 17:3 Kubanga Katonda ayogera omulundi gumu,
Weewaawo, emirundi ebiri, abantu newakubadde nga tebassaayo mwoyo.
15Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro,
Otulo otungi bwe tukwata abantu,
Nga babongoota ku kitanda;
16 # 1 Sam 9:15, Yob 36:10,15, Zab 40:6, Is 50:5 Awo n'alyoka aggula amatu g'abantu,
N'ateeka akabonero ku kuyigirizibwa kwabwe,
17Aggye abantu mu kuteesa kwabwe,
Era akweke abantu amalala;
18 # Yob 36:12 Aziyiza emmeeme ye okukka mu bunnya,
N'obulamu bwe buleme okufa n'ekitala.
19 # Yob 30:17 N'okulumwa kumukangavvula ku kitanda kye,
N'okulwana okutamala mu magumba ge:
20 # Zab 107:18 Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa emmere,
N'emmeeme ye ekyokulya ekiyonjo.
21 # Zab 22:17 Omubiri gwe gumalibwawo n'okuyinzika ne gutayinzika kulabibwa;
N'amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala.
22Weewaawo, emmeeme ye esemberera obunnya,
N'obulamu bwe busemberera abazikiriza.
23 # Lub 16:7; 22:11; 42:23; 48:16, Zab 34:7, Is 43:27, Mal 3:1 Oba waliwo wamu naye malayika,
Omutegeeza, omu mu lukumi,
Okwolesa abantu ebibagwanira;
24Awo n'amukwatirwa ekisa n'ayogera nti
Muwonye aleme okukka mu bunnya,
Ndabye ekinunulo.
25 # 2 Bassek 5:14 Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw'omwana omuto;
Adda mu nnaku z'obuto bwe:
26 # 2 Sam 12:13, Yob 22:27, Zab 17:15, Luk 15:21-24, 1 Yok 1:9 Asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa;
N'okulaba alaba amaaso ge n'essanyu:
Era awa nate omuntu obutuukirivu bwe.
27 # Bar 6:21 Ayimbira mu maaso g'abantu n'ayogera nti
Nnyonoonye ne nnyoola ekyo ekyali ekirungi,
So ssiriiko kye nnagasibwa:
28 # Is 38:17 Anunudde emmeeme yange obutakka mu bunnya.
N'obulamu bwange bunaatunuuliranga omusana.
29 # Yob 33:14 Laba, ebyo byonna Katonda abikola,
Emirundi ebiri, weewaawo, n'esatu eri omuntu,
30 # Zab 56:13 Okukomyawo emmeeme ye mu bunnya,
Ayakirwe omusana ogw'abalamu.
31Weetegereze nnyo, ai Yobu, ompulire:
Sirika, nange naayogera.
32 # Yob 34:33 Oba nga olina eky'okwogera nziraamu:
Yogera, kubanga njagala okukufuula omutuukirivu.
33Oba nga si weewaawo, mpulira:
Sirika, nange naakuyigiriza amagezi.

Currently Selected:

Yobu 33: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in