Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera:
Kiddire eri awali Katonda, ye okukola obubi;
N'awali Omuyinza w'ebintu byonna, ye okukola ebitali bya butuukirivu.
Kubanga alisasula omuntu omulimu gwe,
Era alirabya buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.