Yobu 35
35
1Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti
2 #
Yob 32:2
Olowooza ekigambo ekyo ye nsonga yo,
Oba oyogera nti Obutuukirivu bwange businga obwa Katonda?
3 #
Yob 34:9
N'okwogera n'oyogera nti Kirikugasa ki?
Era nti Ndifuna magoba ki ge ndiba nago okukira ge nnandifunye singa nayonoona?
4 #
Yob 34:8,36 Nze nnaakuddamu,
Ne banno wamu naawe.
5 #
Yob 22:12
Tunuulira eggulu olabe;
Era tunuulira eggulu erikusinga obugulumivu.
6 #
Yer 7:19, Nge 8:36 Oba nga oyonoonye omukola ki?
Okusobya kwo bwe kweyongerayongera, omukola ki?
7 #
Yob 22:2,3; 41:11, Bar 11:35 Bw'oba n'obutuukirivu, omuwa ki?
Oba aweebwa ki mu mukono gwo?
8Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe bw'oli;
N'obutuukirivu bwo buyinza okugasa omwana w'omuntu.
9 #
Kuv 2:23, Yob 22:8; 34:28 Olw'okujoogebwa okungi ennyo bakaaba;
Bakuba enduulu bayambibwe olw'omukono ogw'ab'amaanyi.
10 #
Ma 32:6, Zab 42:8; 77:6; 149:5, Is 51:13, Bik 16:25 Naye tewali ayogera nti Katonda Omutonzi wange ali ludda wa,
Awa ennyimba ekiro;
11 #
Is 28:26
Atuyigiriza okusinga ensolo ez'oku nsi,
Era atuwa amagezi okukira ennyonyi ez'omu bbanga?
12 #
Yob 27:9
Bakaabira eyo, naye tewali addamu,
Olw'amalala ag'abantu ababi.
13Mazima Katonda taawulire bigambo ebitaliimu,
So n'Omuyinza w'ebintu byonna tasseeyo mwoyo.
14 #
Yob 9:11; 13:15; 23:8,9 Kale aliwulira atya bw'oyogera nti tomulaba,
Ensonga eri mu maaso ge, naawe omulindirira?
15 #
Zab 89:32
Naye kaakano kubanga tabonerezza na busungu bwe,
So tassaayo nnyo omwoyo eri esukuti;
16 #
Yob 34:35,37; 38:2 Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu;
Ayongerayongera ebigambo awatali kumanya.
Currently Selected:
Yobu 35: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.