Yobu 28
28
1Mazima waliwo gye basimira ffeeza,
N'ekifo kya zaabu gye balongoosa.
2Ekyuma kiggibwa mu ttaka,
N'ekikomo bakisaanuusa okukiggya mu jjinja.
3Abantu babibira ekizikiza,
Ne bakenneenya okutuuka ku nsalo ekomererayo
Amayinja ag'ekizikiza ekikutte n'ag'ekisiikirize eky'okufa.
4Basima obunnya obuli ewala n'abantu we batuula;
Beerabirwa ekigere ekiyitawo:
Balengejjera wala n'abantu, bawuubibwawuubibwa eruuyi n'eruuyi.
5 #
Zab 104:14
Ensi ye evaamu emmere:
Era wansi evuunikibwa ng'ekivuunikibwa n'omuliro.
6Amayinja gaayo kifo kya safiro,
Era erina enfuufu eya zaabu.
7Ekkubo eryo tewali nnyonyi eyigga erimanyi,
So n'amaaso ga kamunyi tegalirabanga.
8 #
Yob 41:34
Ensolo ezaamalala teziririnnyangamu,
So n'empologoma enkambwe teriyitangamu.
9 #
Ma 8:15; 32:13, Zab 114:8 Agolola omukono gwe ku jjinja ery'embaalebaale;
Avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10Atema ensalosalo mu njazi;
N'amaaso ge galaba buli kintu eky'omuwendo omungi.
11Asiba emigga gireme okukulukuta;
N'ekigambo ekyakisibwa akireeta awalaba.
12 #
Mub 7:24
Naye amagezi ganaalabikanga wa?
N'ekifo eky'okutegeera we kubeera kiri ludda wa?
13Abantu tebamanyi muwendo gwago;
So tegalabika mu nsi ey'abalamu.
14Obuziba bwogera nti Tegali mu nze:
N'ennyanja eyogera nti Tegali we ndi.
15 #
Nge 3:14; 8:10,11,19; 16:16 Tegafunika lwa zaabu,
So ne ffeeza teripimibwa okugagula.
16 #
1 Bassek 9:28, Is 13:12 Tegayinzika kwenkanyankanyizibwa ne zaabu eya Ofiri,
Ne onuku ey'omuwendo omungi oba safiro.
17Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana:
So n'amakula aga zaabu ennungi tegaabenga buguzi bwago.
18 #
Nge 3:15, Ez 27:16 Tebaayogerenga ku kolali n'amayinja ag'endabirwamu:
Weewaawo, omuwendo ogw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 #
Kuv 28:17, Ez 28:13 Topazi eriva e Buwesiyopya teriigenkanenga,
So tegenkanyankanyizibwenga ne zaabu ennungi.
20Kale amagezi gava wa?
N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa?
21Kubanga gakwekebwa amaaso g'abalamu bonna,
Era gakisibwa ennyonyi ez'omu bbanga.
22Okuzikirira n'Okufa kwogera nti
Twawulira ekigambo kyago n'amatu gaffe.
23 #
Nge 8:22-31
Katonda ategeera ekkubo lyago,
Era ye amanyi ekifo kyago.
24 #
Nge 15:3, Zek 4:10 Kubanga atunuulira okutuuka ku nkomerero z'ensi,
Era alaba ebiri wansi w'eggulu lyonna;
25Okukolera empewo ekigera;
Weewaawo, apima amazzi n'ekipima.
26 #
Yob 38:25
Bwe yateekera enkuba etteeka,
N'ekkubo ery'okumyansa okw'okubwatuka:
27Awo n'alyoka agalaba n'agabuulira;
Yaganyweza, weewaawo, n'agakenneenyeza ddala.
28 #
Zab 111:10, Nge 1:7; 3:7; 14:16; 16:6, Mub 12:13 Era n'agamba abantu nti
Laba, okutya Mukama okwo ge magezi;
N'okuleka obubi kwe kutegeera.
Currently Selected:
Yobu 28: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.