Yobu 27
27
1 #
Kubal 23:7
Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n'ayogera nti
2 #
Luus 1:20, 2 Bassek 4:27, Yob 34:5 Nga Katonda bw'ali omulamu alidde ensonga yange;
Era Omuyinza w'ebintu byonna, eyeeraliikiriza emmeeme yange;
3(Kubanga obulamu bwange bukyali bulamba mu nze,
N'omwoyo gwa Katonda guli mu nnyindo zange;)#Lub 2:7, Yob 33:4
4Mazima emimwa gyange tegyogere butali butuukirivu,
So n'olulimi lwange terwatule bulimba.
5 #
Yob 2:3,9; 13:15 Katonda akiddize eri nze okubawa obutuukirivu:
Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.
6 #
Bik 23:1; 24:16, 1 Kol 4:4 Obutuukirivu bwange mbunyweza so ssiibutenga:
Omutima gwange tegunnenyenga nga nkyali mulamu.
7Omulabe wange abe ng'omubi.
N'oyo angolokokerako abe ng'atali mutuukirivu.
8 #
Yob 8:13, Mat 16:26 Kubanga essuubi ly'atamanyi Katonda kye ki, newakubadde nga yeefunira amagoba,
Katonda bw'aggyawo obulamu bwe?
9 #
Zab 18:41, Nge 1:28, Is 1:15, Yer 11:11; 14:12 Katonda anaawuliranga okukaaba kwe,
Ennaku bwe zinaamutuukangako?
10Anaasanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna,
N'akaabira Katonda mu biro byonna?
11N'abayigiriza eby'omukono gwa Katonda;
Ekiri n'Omuyinza w'ebintu byonna ssiikikweke.
12Laba, mmwe mwenna mmwe bennyini mukirabye;
Kale kiki ekyabafuulira ddala abataliiko kye mugasa?
13 #
Yob 15:20; 20:29 Guno gwe mugabo gw'omuntu omubi eri Katonda,
N'obusika bw'abajoozi bwe baweebwa Omuyinza w'ebintu byonna.
14 #
Ma 28:41, Kos 9:12 Abaana be bwe beeyongera, beeyongerera ekitala;
N'enda ye terikkuta mmere.
15 #
Zab 78:64
Abanaasigalangawo ku ye banaaziikibwanga mu kufa,
Ne bannamwandu be tebaakungubagenga.
16 #
Zek 9:3
Newakubadde ng'atuuma ffeeza ng'enfuufu,
N'ategeka ebyambalo ng'ettaka;
17 #
Nge 13:22, Mub 2:26 Okutegeka ayinza okubitegeka, naye omutuukirivu ye alikyambala,
Era ataliiko musango ye aligabana ffeeza.
18 #
Yob 8:14,15, Lu 1:6, Is 1:8 Azimba ennyumba ye ng'ekiwojjolo,
Era ng'ensiisira omukuumi gy'akola.
19 #
Yob 24:24, Yer 8:2, Ez 29:5 Agalamira nga mugagga, naye taakungulwenga;
Azibula amaaso, kale nga takyaliwo.
20 #
Yob 18:11; 22:11; 34:20 Ebitiisa bimukwata ng'amazzi;
Kibuyaga amutwala kyama kiro.
21Embuyaga ez'ebuvanjuba zimutwalira ddala n'agenda;
Ne zimuggya mu kifo kye lwa maanyi.
22 #
Yob 16:13
Kubanga Katonda alimukasuukirira n'atasaasira:
Yandyagadde okudduka mu mukono gwe.
23 #
2 Byom 29:8, Kung 2:15, Ez 25:6; 27:36, Zef 2:15 Abantu balimukubira mu ngalo,
Era balimusooza ave mu kifo kye.
Currently Selected:
Yobu 27: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.