Yobu 29
29
1Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n'ayogera nti
2Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita,
Nga bwe nnali mu nnaku Katonda ze yandabirirangamu;
3 #
Yob 18:6, Zab 18:28 Ettabaaza ye lwe yayakiranga omutwe gwange,
N'omusana gwe gwe gwantambuzanga okuyita mu kizikiza;
4 #
Yob 15:8, Zab 25:14, Nge 3:32 Nga bwe nnali ennaku zange nga zengedde,
Ekyama kya Katonda bwe kyabanga ku weema yange;
5 #
Zab 128:3
Omuyinza w'ebintu byonna bwe yali ng'akyali nange,
N'abaana bange nga bakyanneetoolodde;
6 #
Ma 32:13,14, Yob 20:17 Ebigere byange bwe byanaazibwanga n'omuzigo,
N'olwazi bwe lwanfuukira emigga egy'amafuta!
7Bwe nnafulumanga ne ŋŋenda eri omulyango mu kibuga,
Bwe nnategekanga entebe yange mu luguudo,
8Abalenzi baandabanga ne beekweka,
Abakadde ne bayimukanga ne bayimirira;
9 #
Yob 21:5
Abakungu ne balekanga okwogera,
Ne bateeka omukono gwabwe ku kamwa kaabwe;
10 #
Ez 3:26
Eddoboozi ery'abakulu ne lisirika,
Olulimi lwabwe ne lwegatta n'ekibuno ky'akamwa kaabwe.
11Kubanga okutu bwe kwampuliranga ne kulyoka kunneebaza;
Era eriiso bwe lyandabanga ne liba mujulirwa wange:
12 #
Zab 72:12
Kubanga nawonyanga omwavu eyakaaba,
Era n'atalina kitaawe eyabulwa ow'okumuyamba.
13 #
Luus 2:20, Yob 31:20 Omukisa gwanjijira oyo gwe yansabira eyali ayagala okuzikirira:
Ne nnyimbisa olw'essanyu omutima gwa nnamwandu.
14 #
Zab 132:9, Is 59:17, Zek 3:5, Bef 6:14 Nayambala obutuukirivu ne bumbikkako:
Obutalya nsonga bwange ne buba ng'omunagiro n'engule.
15Nabanga amaaso eri omuzibe,
Era nabanga ebigere eri awenyera.
16 #
Nge 29:7
Nabanga kitaabwe abeetaaga:
Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ssaamanya.
17 #
Zab 3:7; 58:6 Era namenyanga atali mutuukirivu oluba,
Ne nsika omuyiggo ne nguggya mu mannyo ge,
18 #
Zab 30:6
Kale ne njogera nti Ndifiira mu kisu kyange,
Era naayongeranga ennaku zange ng'omusenyu:
19 #
Yob 18:16, Zab 1:3 Emmizi gyange giranze eri amazzi,
N'omusulo gubeera ku ttabi lyange ne gukeesa obudde:
20 #
Lub 49:24, Is 40:31; 41:1 Ekitiibwa kyange kiggya gye ndi,
N'omutego gwange guzzibbwa buggya mu mukono gwange.
21Nze abantu bampulirizanga ne balinda,
Ne basirikira okuteesa kwange.
22 #
Ma 32:2
Nga ndeese ebigambo bo ne batayogera nate;
Okwogera kwange ne kubagwako.
23 #
Ma 11:14, Zab 119:131, Nge 16:15, Zek 10:1 Era bannindirira nga bwe balindirira enkuba;
Era bayasama nnyo akamwa kaabwe ng'abayasamira enkuba eya ttoggo.
24 #
Lub 4:5, Nge 16:15 Bwe nnabasekeranga ne batakkiriza;
N'omusana gw'amaaso gange tebaagusuula.
25Neerobozanga ekkubo lyabwe ne ntuula ng'omukulu,
Ne mbeera nga kabaka mu ggye,
Ng'omuntu akubagiza abakungubaga.
Currently Selected:
Yobu 29: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.