Yobu 24
24
1 #
Mub 9:12, Is 2:12, Yo 1:15; 2:1, Am 5:18 Omuyinza w'ebintu byonna kiki ekimulobera okutereka ebiro?
N'abo abamumanyi kiki ekibalobera okulaba ennaku ze?
2 #
Ma 19:14
Wabaawo abajjulula obubonero bw'ensalo;
Banyaga embuzi lwa maanyi ne baziriisa.
3 #
Yob 22:6
Bagoba endogoyi ey'abatalina kitaabwe,
Batwala ente ya nnamwandu okuba omusingo.
4 #
Nge 28:28, Am 5:12, Zef 2:3 Bakyamya abeetaaga mu kkubo:
Abaavu ab'omu nsi beekweka wamu.
5 #
Zab 104:21,23 Laba, ng'entulege mu ddungu
Bafuluma eri omulimu gwabwe nga banoonyeza ddala eby'okulya;
Ensiko ebawa emmere ya baana baabwe.
6Basala emmere ey'ensolo zaabwe mu ttale;
Era banoga ezabbibu ez'obubi.
7 #
Kuv 22:26,27 Basula ne bakeesa obudde nga tebaliiko kye bambadde,
So tebaliiko kye beebikka empewo nga zifuuwa.
8 #
Kung 4:5
Batoba n'oluwandaggirize olw'oku nsozi,
Era bavumbagira olwazi nga babuliddwa we beggama.
9Wabaawo abakwakula abatalina kitaabwe okubaggya ku mabeere,
Ne baggya omusingo ku mwavu:
10 #
Yak 5:4
N'okutambula ne batambula bwereere nga tebalina kye bambadde,
Era enjala ng'ebalumye beetikka ebinywa;
11Bakamulira amafuta mu bisenge by'abasajja abo;
Balinnya amasogolero gaabwe ne balumwa ennyonta.
12 #
Yer 51:52
Abantu basinda nga bali mu kibuga ekirimu abantu abangi,
Emmeeme y'abo abafumitiddwa n'ekaaba:
Naye Katonda takibala okuba obusirusiru.
13 #
Yok 3:19,20 Abo bali ku muwendo gw'abo abajeemera omusana;
Tebamanyi makubo gaagwo,
So tebabeerera mu mpenda zaagwo.
14 #
Zab 10:8
Omussi agolokokera wamu n'omusana, atta omwavu ne yeetaaga;
Era ekiro aba ng'omubbi.
15 #
Nge 7:9
Era n'eriiso ly'omwenzi lirindirira ekizikiza,
Ng'ayogera nti Tewali liiso erinandaba:
Ne yeefuula amaaso ge.
16 #
Kuv 22:2, Mat 6:20 Mu kizikiza mwe basimira ennyumba:
Beggalira emisana;
Tebamanyi musana.
17Kubanga obw'enkya buli ng'ekisiikirize eky'okufa eri abo bonna;
Kubanga bamanyi ebitiisa eby'ekisiikirize eky'okufa.
18 #
Yob 9:26, Kos 10:7 Aba wa mbiro ng'amazzi;
Omugabo gwabwe gukolimiddwa ku nsi:
Takyukira awali ekkubo ery'ensuku z'emizabbibu.
19 #
Yob 21:13
Ekyeya n'ebbugumu bimalawo amazzi agava mu muzira:
N'amagombe bwe gatyo gamalawo abo abayonoona.
20 #
Yob 18:16, Nge 10:7 Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga ng'ewoomeddwa;
Tajjukirwenga nate:
Kale obutali butuukirivu bunaamenyekanga ng'omuti.
21Alya omugumba atazaala;
So takola nnamwandu bulungi.
22Era awalula n'ab'amaanyi olw'obuyinza bwe:
Ayimuka, so tewali muntu asuubira okuba omulamu.
23 #
Zab 11:4, Nge 15:3 Katonda abawa okuba emirembe, ne beesigama okwo;
N'amaaso ge gali ku makubo gaabwe.
24 #
Yob 14:2, Zab 37:10 Bagulumizibwa; ne wayitawo ebbanga ttono nga bagenze;
Weewaawo, bakkakkanyizibwa, baggibwa mu kkubo ng'abalala bonna,
Era basalibwa ng'emitwe gy'ebirimba by'eŋŋaano.
25Era oba nga si bwe kiri kaakano, ani anannumiriza nga ndi mulimba,
Naafuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa?
Currently Selected:
Yobu 24: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.