Yobu 25
25
1Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2Okufuga n'entiisa biri naye;
Aleeta emirembe mu bifo bye ebigulumivu.
3 #
Yob 19:12, Zab 103:21, Mat 5:45, Yak 1:17 Eggye lye liriko gye likoma?
Era ani ataviirwayo omusana gwe?
4 #
Yob 4:17; 14:4; 15:14, Zab 143:2 Kale omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda?
Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi?
5Laba, n'omwezi tegulina kumasamasa,
N'emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge:
6 #
Zab 22:6, Is 41:14 Okusinga ennyo omuntu, envunyu!
N'omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi!
Currently Selected:
Yobu 25: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.