Yobu 23
23
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 #
Yob 10:1, Zab 32:4 Ne leero okwemulugunya kwange kujeemu:
Okukubibwa kwange kusinga okusinda kwange obuzito.
3 #
Zab 9:7,8 Singa mmanyi gye nnyinza okumulabira,
Singa nnyinza okutuuka n'awali entebe ye!
4 #
Yob 13:3; 33:5 Nandiriraanyizza ensonga yange mu maaso ge,
Ne njijuza akamwa kange ensonga.
5Nandimanye ebigambo bye yandinzizeemu,
Ne ntegeera bye yandiŋŋambye.
6Yandinnyombesezza olw'obukulu bw'obuyinza bwe?
Nedda, naye yandinzisizzaako omwoyo.
7Eyo ab'amazima bandiyinzizza okuwoza naye;
Bwe nnandiwonyezebbwa bwe ntyo ennaku zonna eri omulamuzi wange.
8 #
Yob 9:11; 35:14 Laba, ntambula mu maaso, naye ye nga taliiyo;
Ne ntambula ennyuma, naye ne ssiyinza kumulaba:
9Ku mukono ogwa kkono, bw'akola omulimu, naye ne ssiyinza kumulaba:
Yeekweka ku mukono ogwa ddyo n'okulaba ne ssiyinza kumulaba:
10 #
Zab 66:10; 139:1-3,24, Zek 13:9, 1 Peet 1:7 Naye amanyi ekkubo lye nkwata;
Bw'alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu.
11 #
Zab 17:5; 44:18 Okugulu kwange kwasimbira ddala mu bigere bye;
Ekkubo lye nalikwata ne ssikyama.
12 #
Zab 119:11,103, Yok 4:32,34 Siddanga nnyuma okuva mu kiragiro eky'emimwa gye;
Natereka ebigambo eby'akamwa ke okusinga emmere yange eŋŋwanira.
13 #
Yob 9:12; 12:14, Zab 115:3 Naye ye alowooza bumu, era ani ayinza okumukyusa?
Era emmeeme ye kye yeegomba ekyo ky'akola.
14 #
Yob 10:13, 1 Bas 3:3 Kubanga atuukiriza ekyo ekyanteekerwawo:
N'ebingi ebiri bwe bityo biri naye.
15Kyenva neeraliikirira ye okubaawo;
Bwe ndowooza mmutya.
16Kubanga Katonda azirisizza omutima gwange.
Era Omuyinza w'ebintu byonna anteganyizza:
17Kubanga saazikirizibwa okusooka ekizikiza,
So teyabikka ku kizikiza ekikutte eri amaaso gange.
Currently Selected:
Yobu 23: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.