Era awalula n'ab'amaanyi olw'obuyinza bwe:
Ayimuka, so tewali muntu asuubira okuba omulamu.
Katonda abawa okuba emirembe, ne beesigama okwo;
N'amaaso ge gali ku makubo gaabwe.
Bagulumizibwa; ne wayitawo ebbanga ttono nga bagenze;
Weewaawo, bakkakkanyizibwa, baggibwa mu kkubo ng'abalala bonna,
Era basalibwa ng'emitwe gy'ebirimba by'eŋŋaano.