YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 45

45
1Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti Mufulumye buli muntu bave gye ndi. Ne wataba muntu ayimiridde naye, Yusufu bwe yali yeeyoleka eri baganda be. 2N'akaaba n'eddoboozi ddene: Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira. 3#Bik 7:13Yusufu n'agamba baganda be nti Nze Yusufu; kitange akyali mulamu? Baganda be ne batayinza kumuddamu; kubanga beeraliikirira mu maaso ge. 4#Lub 37:28Yusufu n'agamba baganda be nti Munsemberere, mbeegayiridde. Ne basembera. N'ayogera nti Nze Yusufu muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri. 5#Lub 50:20, Zab 105:16,17Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno: kubanga Katonda ye yankulembeza mmwe okuwonya mu kufa. 6#Lub 41:30Enjala yaakamaze mu nsi emyaka ebiri: era ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula. 7Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonyeza abalisigala ku mmwe mu nsi, n'okubalokola muleme okufa mu kuwonya okw'ekitalo. 8#Lub 41:43, 2 Bassek 5:22,23Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda: era yanfuula kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri.
9Mwanguwe, mwambuke mugende eri kitange, mumugambe nti Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti Katonda yanfuula omwami w'e Misiri yonna: oserengete ojje gye ndi, tolwawo: 10#Lub 46:34era onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abaana b'abaana bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina: 11#Lub 47:12era naakuliisizanga eyo; kubanga ekyasigaddeyo emyaka etaano egy'enjala; oleme okwavuwala, ggwe n'ennyumba yo ne byonna by'olina. 12#Lub 42:23Era, laba amaaso gammwe galaba, era n'amaaso ga muganda wange Benyamini, ng'akamwa kange ke koogera nammwe. 13#Bik 7:14Era mulibuulira kitange ekitiibwa kyange kyonna mu Misiri bwe kiri, ne byonna bye mulabye; era mwanguwe muserengese kitange mumuleete wano. 14N'agwa muganda we Benyamini mu bulago n'akaaba amaziga; Benyamini n'akaabira mu bulago bwe. 15N'anywegera baganda be bonna, n'akaabira ku bo: oluvannyuma baganda be ne banyumya naye.
16N'ebigambo ebyo ne biwulirwa mu nnyumba ya Falaawo, nti Baganda ba Yusufu bazze: ne bisanyusa nnyo Falaawo n'abaddu be. 17Falaawo n'agamba Yusufu nti Gamba baganda bo nti Mukole bwe muti; muteeke ebintu ku nsolo zammwe, mugende muserengete mu nsi ya Kanani; 18#Lub 47:6mutwale kitammwe n'ennyumba zammwe, mujje ewange: nange ndibawa ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri, era munaalyanga obugimu obw'ensi. 19Kaakano olagiddwa, mukole bwe muti: mutwalire abaana bammwe abato ne bakazi bammwe amagaali mu nsi y'e Misiri, muleete kitammwe mujje. 20Era temulowooza bintu byammwe; kubanga ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri byammwe. 21Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo: Yusufu n'abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira, n'abawa n'entanda ey'omu kkubo. 22#2 Bassek 5:22,23Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza ebikumi bisatu, n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano. 23Ne kitaawe n'amuweereza bw'ati; endogoyi kkumi ezeetisse ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi ezeetisse eŋŋaano n'emmere n'ebyokulya kitaawe by'aliriira mu kkubo. 24Bw'atyo n'asiibula baganda be ne bagenda: n'abagamba nti Mwekuume muleme okuyombera mu kkubo. 25Ne bayambuka ne bava mu Misiri, ne bajja mu nsi ya Kanani eri Yakobo kitaabwe. 26Ne bamugamba nti Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri. Omutima gwe ne guzirika kubanga teyabakkiriza. 27#Lub 45:19Ne bamugamba ebigambo byonna ebya Yusufu, bye yababuulira: kale bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumusitula, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amaanyi: 28Isiraeri n'ayogera nti Kinaamala; Yusufu omwana wange akyali mulamu: ndigenda okumulaba nga sinnafa.

Currently Selected:

Olubereberye 45: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in